Bismillah Al-Rehman Al-Raheem

 

ALFATWA     International    No.3

 

 

        AB’EMIKWANO ABASOMI BANGE,

ALHAMDULILLAH  KATI GIWEZE EMYAKA ESATU BUKYA KIBIINA KINO EKYA  ANTI AHMADIYYA MOVEMENT (AAM) KIRANGIRIRA OKULWANYISA N’OKUKUFUFUGAZA OBU AHMADIYYA oba OBU KADIYAANI NGA KIYITA MU KATABO KANO (AKAYITIBWA ALFATWA).

 

      NAKATI KAKYAGENDA MU MAASO N’OKWANJARA OBUKUKU BWONNA -OBUSIIGIDDWA  AKAZIGO, OBWEDDIINI EY’OBU AHMADIYYA,ABEYITA MBU BASIRAAMU. OLW’OKUSAASIRA KWA ALLAH OBUBAKA BWAFFE BUSOBODDE OKUSAASAANA NE BUTUUKA MU BULI KASONDA K’ENSI YONNA. BAGANDA BAFFE ABASIRAAMU WONNA WEBALI KATI BATANDISE OKUGENDA NGA BATEGEERA N’OKWEKKANYA OBUKODYO BUNNAMUTTA OBUKOZESEBWA ABANTU B’EDDIINI Y’OBU- AHMADIYYA. NGA BERIMBIKA MU DDIINI Y’OBUSIRAAMU. TWEBAZA NE SSEKWEBAZA  ABO BONNA ABAYAMBA MU NGERI EZ’ENJAWULO OLW’OKUTUSOBOZESA OKUSAASAANYA AMAWULIRE GANO.

 

        MIRZA GHULAM AHMAD NGA ONO YEYATANDIKAWO ENZIKKIRIZA Y’OBU AHAMADIYYA N’AKIWAGANYIKA MU BUSIRAAMU KATI ENSI YONNA EMUMANYI BULUNGI NTI SI MUSIRAAMU ERA MUKAAFIIRI.ENSI YONNA EMANYIDDE DDALA ENZIKKIRIZA ENO EY’EKIKAFIIRI BWE YALI. OLABA N’ABAMU KU BA AHMADIYYA/ABA KADIYAANI  KATI NABO BAZIBUSE AMAASO KU BULIMBA BWE YAWAGIKA MU BUSIRAAMU! WABULA BANYIIGA NNYO BW’OBAYITA ABAKADIYANI- EKYO KYOKKA KIKULAGA NTI WALIWO OBUBI OBUKWEKEDDWA MU NZIKKIRIZA YAABWE. NEWANKUBADDE AB’EhhAANDA ZABWE OBA EDDIINI YABWE, N’EBIRARA BIGEZAAKO OKUBAKUUMIRA AWAMU MU DDIINI YABWE OBUTASSATTULUKUKA.

BAWABYA N’OKUWUBISA ABANTU NGA BABALOWOOZESA NTI NABO BASIRAAMU ABASUNNI SONGA BAMBI SI BASIRAAMU- OLWENSONGA NTI ABAHAMADIYYA NABO BALINA NNABBI WABWE (MIRZA GHULAM AHMAD) ERA BALINA EKITABO KYABWE EKITUKUVU (BRAHEEN AHMADIYYA), BARINA ENZIKKIRIZA YABWE (EYOBU AHMADIYYA), BARINA EKIBUGA KYABWE EKITUKUVU (RABWA EKYE KADIYANI) ERA FFE TUBAWA AMAGEZI EDDIINI YABWE BAGIWE ERINNYA EDDALA ERITALI LYA BUISLAAM, TUBAKAKASA NTI TUJJA KUBA NABO MIREMBE NGA BWE TULI ERI AB’AMADDIINI AMALALA NGA   ABAHINDU, ABAKULISTAAYO, ABAYUDAAYA, ABABAHAI, N’ABALALA N’ABALALAL!!!

 

        EKIBIINA EKIRWANYISA OKUSAASAANA KW’OBU AHMADIYYA KIZZEEMU NATE OKUSOOMOOZA MIRZA THAIR AHMAD KADIYANI, NGA ONO KATI YE MUKULEMBEZE OWO KUNTIKO OW’EKIDDIINI EKYO TUSISINKANE TUKOLIMIRAGANE. FFE TULAYIRA MU LINNYA LYA ALLAH NTI JAJJAWE, NGA YEYATANDIKAWO OBU AHMADIYYA, YAVVOOLA NE SSEKUVVOOLA YENNA NNABBI WAFFE (S.A.A.W.) NE QUR’AAN ENTUKUVU ERA FFE TUGAMBA NTI KALE BWABEERA NGA YEKAKASA BYAKKIRIRIZAAMU ALANGIRIRE NGA BW’ALAYIRA ELINNYA LYA ALLAH AWO MU MUZIKITIGWE OGULI KU LUGUUDO OLUYITIBWA: GRESSENHALL ROAD, LONDON,KU PLOT 16, NGA NAFFE WEETULI NGA AGAMBA NTI,: MIRZA GHULAM AHMAD TAYOGERANGAKO KIGAMBO KYONNA YADDE OKUKOLA EKIKOLWA KYONNA KIVUMA OBA EKIVVOOLA QUR’AAN NE NNABBI (S.A.A.W.). WABULA, YALI  MUWEEREZA OMWESIMBU. ERA BWANEBALANKANYA, NE YEWALA OKUKOLIMIRAGANA KUNO, EKYO KINAABA KITEGEEZA NTI KYONGEDDE OKWOLEKA,OKUKAKASA, N’OKWANJARA OBULIMBA BW’ABA  AHMADIYYA  N’OBWOMUTANDISI W’EDDIINI EYO.

 

       EBYAFAYO BYA MIRZA KADIYANI MU BUFUNZE

Bino wamanga by’ebigambo eby’afulumanga  mu kamwa k’oyo  eyeyitanga Nnabbi.

Yasooka n’agamba bw’ati,:

 

“YYE”! YE KATONDA EYASINDIKA OMUWEEREZAWE, OMWETOWAAZE, N’OBULUhhAMU, N’EDDIINI…. N’EMPISA Z’OBUGUNJUFU”

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky’Abakadiyani ekiyitibwa; Roohani Khazain, omuzingo 17 empapula: 35-36 Ekyawandiikibwa, Mirza Ghulam Ahmed).

“Embeera zange teziyinza kutuukawo ku kino; eky’okwogera ekigambo kyonna ekivuma nga kifubutuka mu kamwa kange”

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky’Abakadiyani ekiyitibwa; Roohani Khazain, omuzingo 4  olupapula: 320)

Naye Abakadiyani babiri bwe battibwa ku kalabba mu nsi ya Afghanistan olw’okuyigiriza nga bawakanya jihad, n’alyoka afukumula ebigambo ng’abyolekeza eri Abafghani/Abapanthasi/Abakandharisi. Tewaliyo kigambo kitaayogerwa nga abavuma,: yabayita Abayudaaya era nti balina endowooza nga ezaabwe olw’ensonga zino:

·        Baagambibwa ba Jajja baabwe nti baava mu Bayudaaya

·        Bw’oba abatunulidde mu byenyi byabwe, bafananira ddala Abayudaaya era singa obayimiriza awamu, babeera ng’abaava mu nnyumba emu;

·        Enyambala yabwe efananira ddala ey’Abayudaaya;

·        Eby’obuwangwa byabwe bifanana n’ebyo eby’Abayudaaya. Okugeza nga, abawala babwe :bwe babeera nga tebannaba kufumbirwa beetaaya kyere ne baganzi baabwe ne batuuka n’okubeera nti ne bwe bafuna embuto bo besekera bwesekezi.

·        Okwetaaya ekyere okwa Hadhrat Maryam Siddiqa ne muganziwe Yusuf Najjar ako kabonero akakasa eby’obuwangwa bino.

·        Ensanyuka n’enyiiga zaabwe bifaana n’embeera z’Abayudaaya: Obutaba na mpisa, okunyiiganyiiga amangu, okwefaako bokka, okwagala okuyiwa omusaayi, okuyombayomba n’obutaba beesimbu nga mw’otwalidde n’empisa endala envundu nga endowooza ez’obutemu, obutasoma, n’obutamanya bye byo byenyini abantu bo kunsalo Abapathani/ Abafghani n’Abakashimiri  bye balina nga bwe byawandiikibwa mu ndagaano enkadde n’ebitabo ebirala eby’aba Israeli.

·        Singa osoma ku nneyisa, embeera z’obulamu ez’aba Bani-Israel mu Surat-ul Baqarah mu Qur’aan oyinza okulowooza nti yali eyogera ku Bantu bo kunsalo Abafghani/Abapathani. (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky’Abakadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain, omuzingo 14  olupapula: 300)

 

EDDIINI Y’ABA AHMADIYYA-

 

                                        BALABE BA BUSIRAAMU NE PAKISTAN

 

         Eddiini y’Abakadiyani/Abahmadiyya ekyagenda mu maaso n’ebikolwa byayo eby’obunnanfusi eri Obusiraamu mu nsi yonna naddala mu nsi ye Pakistan. Enkwe zikolebwa nga bali wamu n’abo abalwanyisa Obusiraamu era oluvannyuma zirangirirwa ng’ebyamagero n’obubaka. Okutugumburwa kwa General Zia-ul-Haq wamu n’abakulu abalala mu magye ga Pakistan kyakulabirako ekikakasa enkwe zaabwe. Bw’otunulira embeera y’ebyobufuzi etabanguse, ebyenfuna ebiri mu katyaabaga okweyongera kwa Gavumenti y’Amerika okweyingiza mu nsonga zomunda ez’eggwanga lya Pakistan; n’engeri Gavumenti ya Pakistan gy’etitiibyamu abawagizi ba Abakadiyani, kino kiretedde abakulembe abokuntikko Abakadiyani okuddamu okusuubira nti bagenda kuddamu okufuga eggwanga lya Pakistan.

 

MIRZA TAHIR AYOGERA ERI BANNAMATEEKA B’OMU AMERIKA

 

          Okusinziira ku lupapula olw’amawulire oluyitibwa Daily Jasarat, olw’afuluma nga ennaku z’omwezi 23rd/Oct/1994, Mirza Tahir bwe yali alambula mu Amerika, yasisinkana olukiiko olukozi olw’mateeka mu Amerika oluyitibwa American Congress wamu n’olukiiko olufuzi oluyitibwa Senate, Yabakakasa okubaweereza obutebalira era n’okwongera mu maaso endowooza ye ewakanya okulafuubana mu kkubo lya Allah ye gye yayita “JEHAD-FREE IDEOLOGY” ebyo nno byali bigambo ebiwoomerera ennyo mu matu g’abo abatya Obusiraamu mu mawanga ga Bulaya. Yabegayirira bamuyambe okuyunga olujegere wakati wa Gavumenti ya Pakistan n’eddiini y’Abakadiyani. Mu bamu ku abo abaaliwo ku mukolo ogwo ly’edindirizi ly’amawanga ga Bulaya eliyitibwa Yousuf Haroon nga ye muganda w’omwami Mahmood Haroon, eyaliko Gavana wa Sindh, eyawagira ennyo Abakadiyani/Abahmadiyya n’ebyo bye bakkiririzamu. Era nga asuubira nti luliba olunaku lumu ne beyagalira mu nsi eyo.

(Bino bikoppeddwa okuva mu lupapula lwa Amawulire oluyitibwa: Weekly Pakeeza International, Toronto, Canada.

 

OKUDDA MU PAKISTANI KUMAZE OKUKAKASIBWA, ABALOONGOOFU  BO BAKUBONYABONYEZEBWA OLW’ENKYUKAKYUKA-

Bya Mirza Tahir.

Rabwa (N.N.I)

         Mirza Tahir, nga ye mukulembe w’eddiini yab’Ahmadiyya yagamba nti kati emikisa gy’okuddakwe mu Ggwanga lye Pakistan gimaze okubeera emyanjulukufu. Bwe yali anyonnyola ebigambo bye yayita eby’obu NnabbiAFTER 11 YEARS” ebitegeeza “OLUVANNYUMA LWEMYAKA 11  ebyayogerwa Jajjawe, Mirza Ghulam Ahmad, eyatandikawo eddiini y’obu Ahmadiyya,Mirza Tahir yagamba bwati ,:

Emyaka 11 oluvannyuma lw’okuwahhaanguka okuva e Pakistan giweddeko mu April 1995, era kati okudda mu Pakistan kumaze okutuuka, wabula ensonda eziri okumpi ddala ne Mirza Tahir zigamba nti yagamba nti,: yaloota nti wagenda kubeerawo enkyukakyuka mu byobufuzi era abakulu mubo bagenda kufa n’abakulu b’amaddiini bagenda kubonyabonyezebwa, omukulembeze w’ekibiina ekyebyobufizi ekitutumufu n’abantu  b’omu nnyumbaye n’abo abamuli okumpi bagenda kufuuka Bahmadiyya.

 

Wetegereze:

       Abantu bomu nnyumba y’omukulembeze weby’obufuzi ono bonna baali basaakaanya abatutumufu ab’Obukadiyani, si yali bwomu yekka, wabula abantu nga 40 abalala abaali mu lukiiko lwe Ggwanga n’abo abaava mu nkiiko z’ebitundu baali Bakadiyani. Naye olw’okubasobozesa okufuna ebifo mu nkiiko ezo baali baalangirira mu lujjudde nga bwe bataali Bakadiyani era  mbu baali Abasiraamu aba nnamaddala era abaali bakakkasa nti Mirza Ghulam Ahmad Kadiyani n’abagoberezi be bonna Bakaafiiri  abatakyakkiririza mu Busiraamu. Eyo nno y’enkola n’endowooza y’Abakadiyani.

Kyali kisoboka okubeera nti abakiise ba Palamenti bano, olw’okutuukiriza ebigendererwa byabwe, okulangirira  mu lwatu nti kati bafuuse Abakadiyani kino kibasobozese okutuukiriza ekirooto kya Mirza Tahir era bwe batyo abakiise bano babe nga bamwelurira ekkubo okudda ku butaka mu Pakistan emirembe, nga abangi abalala abaatoloka  bwe bakola.

Insha-Allah ekirooto kino tekigenda kutuukirira.

           

OKULAGULA: AMAZIMA N’OBULIMBA.

 

Okumanya ebinaaberawo oba ebiribeerawo mu biseera eby’omumaaso byewunyisa nnyo abantu, era abantu bagezzaako  okuteekateeka  amakubo nga betegekera ebiri mu maaso n’ebibamba okugeza nga:entekateka,okusuubira,okulagula n’okulanga.Balowooza nti okumanya ebigwa tebilagaanye kiyinza okubayamba okukola enteekateeka ssinziggu ezibasobozesa okwewala obubenje n’ebibamba olwo nno ne babeera mu bulamu bw’ensi eno nga beyagala n’okusanyuka ebitayogelekeka. Bambi  babeera  tebamanyi nti obulamu bwabwe waliwo Omutonzi abuwaniridde era  n’ebyo bye tuyita obubenje  biba bisaliddwawo Allah era ne biryoka biba nga ffe bwe tubilaba. Ekyo kyonna Allah kye yatuteekerateera kitutukeko okukimanya nti kijja kututuukako kyongera bwongezi ku bwakyo kutunakuwaza. Kale Allah  obutabitumanyisa ddi lwe binatugwako kituyamba kinene nnyo obutateeka bulamu bwaffe mu mbeera ey’okunyolwa n’okwelarikirira. Mungeri y’emu obunafu buno obw’obutamanyi kinatutukako mu dakila edirira, buletera abantu  abayaaye, abakumpanya era ababbi abeyita ba Nnabbi okukozesa obutamanya bwaffe okutuukiriza ebigendererwa byabwe. Okuva edda ne dda abantu abafana bwe batyo bazze belaguzalaguza, baloga, basera n’okulimba abantu mbu basobola okubabulira ebinaabatuukako era ne babawa n’amayirizi mbu babyekingirize. Bakozesezza buli kakodyo k’obulyake n’obulimba nga okutunulira munyenye, ebibatu byengalo, okukozesa ennukuta, amayinja agatangalijja n’ebirala ebifanana ng’ebyo.

Emikolo gy’obuwangwa egy’enjawulo gisangibwa mu mawanga n’ebitundu bingi eby’ensi: Abalaguzisa emunyeenye,  Obulogo, abakozesa ensiimbi eng’anda, amayinja agatangalijja, ESP- Extra- Sensory Perception (okukozesa Amajinni okumanya ebinaddirira. Obusamize, bikozesebwa nnyo mu mawanga ga  Bulaya. Mungeri y’emu okubuulira omwana ebinamutuukako mu bulamubwe nga bakozesa omwezi n’emunyeenye, okubebera mu bibatu by’engalozo, ebilooto n’okubitaputa bye bimu ku bikozesebwa mu nsi ezirimu Abayindi n’abo ababafanaana. Okugeza: mu Ggwanga ly’Abahindu omwana bw’azalibwa batunuulira ebifo ebyemunyeenye zi ssehhendo (planets) ne bateebereza omwana oyo ky’anaabeera mu bulamubwe. Mu mawanga g’ebuvanjuba osanga abantu ku mabbali g’enguudo nga babuulira abantu mbu emikisa gyabwe era oluvannyuma babasaba babasasule olw’omulimu gwe baba babakoledde okubamanyisa emiksa gyabwe. Bangi mu bo bakozesa enkusu era n’abalala bo  batunula mu bibatu  era basangibwa nnyo ku mabbali genguudo z’omu kibuga Karachi.

Omusajja ayitibwa Nanstradauus nga musawo Omufaransa era eyali omutebereza w’ebinajja mu biseera by’omumaaso, bingi bye yayogera ebigenda bibaawo oluvannyuma lwe myaka 400.

Waliwo n’abalala nga Edgar Cayce, Jean Dixon bebamu ku abo abagenze balagula ebirigwawo ate ne bituukirira.

Sayansi bw’agenze nga akulakulana wamu n’okuvumbula, ebintu bingi biteeberezeddwa ate  ne bituukirira.

Abasawo mu biro bino bakozesa Tivi eziyitibwa Ultrasongraphic Machines okumanya omwana ali mu lubuto lwa nnyina oba anaaba mulenzi oba muwala. Mungeri y’emu ab’ebyembeera z’obudde mu nsi yonna nabo bakozesa ebyuma ebirengera ewala ebiyitbwa Satellites okusobala okumanya embeera y’obudde bw’enebeera mu nnaku ezinaddirira.

       Ne bwekityo n’abatunilira ebyomu bwengula batera okulangirira biki ebinaabawo mu ntambula z’ensi n’emunyeenye - nga Omwezi, Ensi oba Enjuba okusiikiriza binaabyo nga ebula emyaka n’ebisiibo bilyoke bibeewo era ne bituukirira nga bakozesa okubalirira ku byuma bikalimagezi.

Abo bonna abagenze bakola ebyo byonna baze batubuulira nga bwe bagenda beyongera mu kukuguka mu magezi ga Sayansi sso si kweyita ba Nnabbi yadde ba Nnaddiini.

Enkusu zikozesebwa okulonda ebbaluwa ey’omukisa olw’ensonga nti ebbaluwa eyo eba esigiddwako emere yayo. Era tewabangayo ku nkusu yadde mukama waayo eyali yelangiridde ku bwa Nnabbi. Okuteebereza, okulagula, n’okulangirira ebirigwawo mu biseera byomumaaso si nsonga elaga nti omuntu oyo mutukirivu. Era tewali Ddiini yonna ebyeteekako yadde ababikola okwelangirirako obutuukirivu. Allah Ow’ekitiibwa Owa wagulu ennyo agenze atusindikira ababaka ababadde n’obusobozi obumanya ebyekusise era oluusi ne balangirira ebiribaawo mu butali bugendelevu naye ebyo tebaabitwalanga ng’ekyokukakasa obu Nnabbi bwabwe.

 

Mirza Ghulam Ahmad Qadiyani ye yekka eyalina omukisa omubi ne yelangirira nga bwe yali Nnabbi olwebyo bye yali alangiridde nti bigenda kutuukirira era nti bwali bubaka okuva ewa Allah naye ate bambi kumpi byonna ne bitatuukirira. Y’omu eyagamba nti ebirooto ebituufu bisoboka okufunwa ba Malaya, Abayaaye, Abasinza ebifananyi,Ababbi, Abenzi n’Abalimba.

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo ky’Abakadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain, Malfoozat omuzingo ogwe10 empapula 92, 93, 151).

Era yabilangirira ng’ebyamagero ebikulu ennyo ebiraga amazimage n’obwa Nnabbi bwe. Kati kiri eri abagoberezibe okwesalirawo wa webayinza okuteeka oyo omusajja eyepaatika ku bwa Nnabbi. Ekisinga okwewunyisa kwe kubeera nti buli lwe yesibanga ku kintu kyonna era n’akirangirira ng’obubaka bw’afunye obukakasa obutuufu bwe nakyo gye kyakomanga okumuswaza ne kitatuukirira. Kakibe nga kyali kikwata kuye ng’obufumbo obutukuvu obwaka mbu nga bubaka wakatiwe ne Muhammadi. Begum’ (soma ekitabo ky’Abakadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain omuzingo ogwo5 olupapula: 325) oba kabube ‘mbu obubaka bw’okubonerezebwa kwa Abdullah Atham  (soma ekitabo ky’Abakadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain omuzingo ogwo 6 olupapula: 292).

Tewaali kyali kisobola kumuyamba ka kibe enguzi gye yawanga aboluganda b’omukyala Muhammadi Begum yadde olukasuka lwe yakasuka ensigo z’empindi mu luzzi olwalekebwawo ettayo. Byonna  tebyamuyamba.

Kigambo kya nnakku  nnyo nti oluvannyuma lw’emyaka egisoba mu kikumi n’oluvannyuma lw’okumanya ebikolwa bye nga byali bya bulimba, tukyagenda mu maaso n’okulaba abantu nate abakyagenda mu maaso nga bakkiririza mu kirerya ky’obunnabbi bw’omusajja ono. Azikiriza obukkiriza bwabwe, ayonoonye ebiseera byabwe n’ensimbi zabwe nga bali mu kuwakana oba Isa Ibn Maryam yafa, yazalibwa oba agenda kuddamu okuzaalibwa,kitaawe yali ani n’ebirala.

Twewuunya abantu olukakkanya lwe bakakkanyiziddwa olw’okwagala okufuna eby’akaseera akatono nga ebyobwagazi ne wankubadde nga bibajjisisaako  obukkiriza bwabwe!

             Obusiramu bwo bugamba nti abo si Basiraamu. Ffe tubuuza Abakadiyani ekibuuzo kyangu nnyo:

Oyo eyeyita ‘Nnabbi’ era ‘Masiih’ eyasuubizibwa tayogerangako bigambo nga bikwata ku kufa kwa ATHAM nga agamba bw’ati? :

Nhheenda kukikkiriza nti nze ndi mulimba, nsiige n’enziro mu kyenyi kyange, nswale oluswala era munsibe omuguwa mu bulago muntuge singa Atham taafe mu kiseera kye nnangiridde.”

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky’Abakadiyani ekiyitibwa Roohani Khazain  omuzingo 69. olupapula 293) Kufa,Ha! Ha!, nga teyafa! Mmwe abagoberezibe lwaki temumwabuliranga yadde okumuwakanya olw’okwogera ebigambo bye yayita obubaka ate nga bya bulimba yadde temwagezaako okumusiba mugwa mu bulago okumutuga?

Naye ffe kale ekyo tukikoze yadde tukeleye emyaka 100.

 

                                                        

                                                          

 

                                                  EKIRAAMO

        Tubabikira ne Nnaku enyingi okufa kwomwaami Naeem Osman Memon Kadiyani, eyafa ekikutuko mu kibuga London, amangu ddala nga baakawandiika ekitabo ne munne Mirza Tahir Ahmed ekiyitibwa “3 in 1”(amakulu:Obusatu mu kamu) ekyawandiikibwa nga kiddamu ekyo ffe kye twawandiika ekiyitibwa “2 in 1”(amakulu:Obubiri mu kamu) nga kikwata ku bulamu bwa Mirza Ghulam Ahmad Qadiyani. Tusaba Allah agumye abennyumba ya Neem Osman Memon Qadiyani olw’okufiirwa kuno. Okufaakwe okw’ekibwatukira kutulumye. Singa abadde nga awangaddeyo  akabanga oba yandisobodde okusoma ku katabo kaffe akayitibwa “3 + 1 = 4th Khaifa nga ke keko akadda mukali  akaabwe era tukikakasa nti Allah yandimwanjuluzza omutima gwe eri Obusiraamu.Naye kitalo nnyo!

 

Mu ngeri y’emu tutusa okubagiza kwaffe eri omwami Mirza Tahir Ahmad era tusaba Allah, kale amuweeyo ekiseera ekiwanvuko asobole okutwalirizaako mu maaso omulimu ogwo Jajjawe gwe yatandikawo, era afe nga ye bwe yafa era oluvannyuma naye abeelere ddala mu mbeera yye mwali okutuusa Allah lw’alizingako ensi. Amiina.

 

ANTI AHMADIYYA MOVEMENT IN ISLAM

Oyinza okusoma ebisingawo

Ku lutimbe lwa tivi olwa Internet luno:

http://alhafeez.org/rashid

oba reasyed@emirates.net.al

oba

Dr. syed Rashid Ali

P.O.Box 11560

Dibba AlFujairah

United Arab Emirates

Fax: 9719442846

Dr. Ahmed Oudeh

P.O.Box 1056

Ronninge 14421

Sweden

Tel: 085 32 55 807

 

EBALUWA EY’OLWATU ERI MIRZA TAHIR AHMAD QADIYANI IMAAM W’ESINZIZO LY’ABA AHMADIYYA

Ssebo, Mwami Khalifa ow’okuna ow’Abaqadiyani

Tufunye amawulire agagamba nti kati naawe otandise okuloota emisana bwe ttuku mbu nawe kati otandise okufuna obubaka.

Nawe ate kati wefananyirizza kitaawo nga bwe yali, kikusobozese okutuukiriza ebigendererwabyo!

Okuva lwe watolosebwa okuva mu Ggwanga lya Pakistan era mbu okusinziira ku kulagulakwo nga Jajjawo kwe yakola okwali kugamba nti “OLUVANNYUMA LW’EMYAKA 11 egya Mirza Ghulam omu Qadiyani era eyatandikawo essinzizo ly’aba Ahmadiyya, kati ekiseera mbu kituuse oyongeddeko n’okugamba nti Pakistan egenda kusaanawo mbu era abantu abatutumufu bangi bagenda kubonyabonyezebwa. Era nti waliwo munabyabufuzi omuyitimufu agenda okufuuka Omuqadiyani ekyo kisobozese okwelulwa kwe kkubo elinakuzza mu Pakistan.

 

Kati nno ggwe mwami TAHIR AHMAD ffe: Syed Abdul Hafeez Shah ne Syed Rashid Ali, tukusoomooza nti ebyo byonna by’oyogedde nga bikwata ku Pakistan  n’okudayookwo, bwe binatuukirira mu kiseera ekyo ky’ogeze ekyemyaka 11 so si luvannyuma lwa myaka 12, naffe tujja kuyingira mu Buqadiyani mu maaso go awo mu ssinzizolyo ly’oyita omuzikiti mu kibuga London. NAYE bwe kinaagaana okutuukirira nga bw’okirangiridde mu kiseera ky’okigeredde naawe tukusaba ojje Osiramuke.

 

Tukusaba okkirize okusoomoozebwa kuno mu buwandiike nga tewanaba kuyitawo myezi esatu okuva kati.

Bw’otokikole bw’otyo, naffe tugenda kutandika okwanjala obulimbabwo n’okutyako kw’okoze eri okusoomozebwa kuno.

 

Nga era Mirza Ghulam omu Qadiyani bwe yali ne beyali nabo, namwe bwe muli. Muli balimba, muteekateeka enkwe n’abalabe b’Obusiraamu era abalabe be Ggwanga lya Pakistan, ne mubamatiza era ne muzanyira kubirowoozo by’abantu nga mulangirira enkwe ze mumaze okukola nti bubaka obusse ku mwe. Mungeri yonna, Insha-Allah, guno gwe mukisa gwo ogusembayo era Allah bwanabeera nga akkiriza ogenda kuswala oswaluke. Allah yalonda obusiraamu nga ye Ddiiniye gyasiimye era gwe kikakafu oli bweru waayo era Allah yeyatonda e ggwanga lya Pakistan naye ggwe  toli w’amazima eri lyo. Kikakafu Allah agenda kukukuuma byombi abitaase abalabe babyo, INSHA-ALLAH.

 

ABA KADIYANI 714 BAASIRAMUSE MU GGWANGA LYA GYAMANI(GERMANY).

 

       Omwami Zofar Iqbal nga ono muvubuka omujaahidi ow’ekibiina ekirwanyisa obu Ahmadiyya ekiyitbwa Anti Ahmadiyya Movement in Islam atutuusizako amawulire okuva mu Ggwanga lye Gyamani(Germany) agagamba nti Abakadiyani/aba Ahmadiyya basasanidde mu mawanga ga Bulaya mangi naddala mu ggwanga lya Germany nga bagenda basomesa bo kye bayita Obusiraamu. Ekigendererwa kyabwe bebo Abasiraamu bambi abanoonyi b’obubudamu abadduka okuva mu Ggwanga lye Bosiniya(Bosinia). Nga era bulijjo batwala embeera nga zino ne bakozesa omukisa guno nga beefula Abasiraamu bambi abalumirirwa Basiraamu bannabwe, nga babawa obuyambi bw’ensimbi mu linnya ly’Obusiraamu era nga bwe babagumya nti nabo Basiraamu banabwe aba Sunni. Bwe batyo basobodde okuwabya n’okukyusa Abasiraamu bangi ddala abavudde mu ggwanga lye Bosiniya(Bosinia) nga badduka ekibambulira ky’olutalo.

Naye olw’okusaasira lwa Allah, Omusiraamu embula kalevu ono nga  ali wamu ne banne balaze obumalirivu era ne batandikirawo omulimu Ogw’okulabula, Okuwabula n’Okutegeeza Abasiraamu abo kiki ddala ekituufu. Era mu kaseera mpa we kaaga Abasiraamu Ababosiniya abasoba mu lusaanvu(700) abo abanoonyi b’obubudamu mu kibuga kimu kyokka ekiyitibwa Heilbronn bamaze okudayo mu Busiraamu. Al Hamudulillah!

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 MIRZA TAHIR AND MUBAILA

 

 

                                                                                                                                   LUGANDA

 

BISMILLAH AR-RAHMAAN AR-RAHIIM

 

Anti Ahmadiyya movement in Islam

7th June 2003

 

OMUBAHILA NE MIRZA TAHIR

Bya Dr. Syed Rashid Ali

 

 

Abalimba bwe bakolimiragana mu Mubahila n’abantu Ab’amazima; Abantu abo Abalimba bafa nga ab’amazima baky’atemya”

(Bino byali bigambo bya Mirza Ghulam Kadiyani ebyafulumira mu kitabo ky’Aba- kadiyani ekiyitibwa Malfoozaat).

 

mu mwaka 1988 Mirza Tahir Ahmed kadiyani, nga ono ye yelonda ku bwa Khalifa obwekibiina eky’aba Ahmadiyya yalangirira nga bwatadewo okusoomooza ssemasoomooza mu Mubahila (okukolimilagana) wakatikwe n’Abasiraamu b’omu nsi yonna era ngeno bw’abayita ‘abatakkiriza era abalimba’.

Obupapula obwaliko okusoomooza kuno bwagenda busuulibwa mu mayumba g’Abasiraamu mu bubba, mu kiro, mu kibuga Karachi ekya Pakistan. Abayivu b’Obusiraamu bangi ddala abakkiriza okusomoozebwa kuno, nga mubo mwe mwali Syed Abdul Hafeez Shah, Omutandisi w’ekibiina ekilwanyisa obu Ahmadiyya  ekiyitibwa Anti Ahmadiyya Movement in Islam era yalangirira nga bw’asazeewo okugenda mu kibuga London basisinkane maaso ku maaso (nga bweri enjigiriza ya Nnabbi waffe Muhammad (S.A.A.W). Ekyennaku Mirza Tahir, yatya, teyaddayo nakukinyegako n’akamu n’akatono.

 

Okuva olwo, nange ku lw’ekibiina kino ekiyitibwa Anti Ahmadiyya Movement in Islam, neyongera okugenda mu maaso n’okusoomooza Mirza Tahir yeevemu tukolimiragane. Kino nzize nkikola enfunda eziwerako mu mwaka (1994, 1995, 1997, 1998 ne mu 2000) naye bambi teliyo lunaku nalumu lwe yali yevuddemu n’agogonokayo n’akkiriza okusoomoozebwa kwange. Maulana Manzoor Chinioti agenze mu kibuga London kumpi buli mwaka nga naye asoomooza Mirza Tahir akkirize bakolimiragane bwabeera nga byayimiriddeko byamazima naye nga tevaayo kanyego. Ne muganda waffe mu Busiraamu ayitibwa brother Ahtesham-ul-Haq Abdul Bari naye yasituka n’agenda mu kibuga London ku kitebe ekikulu eky’aba Ahmadiyya mu nsi yonna mu mwezi ogwa September 1996 era n’asaba basisinkane bakolimiragane ne Mirza Tahir mu Mubahila, naye bambi era yeelema era tebaasisinkana.

 

Naye waliwo olugero oluli mu lulimi olu Urdu olugamba, mu kuluvvunula nti, ‘olaba olumbe lusemberera empisi, olwo luba lusemberedde ekibuga’. Emyaka bwe gigenze giyitawo bukya afuna obwa Khalifa, Mirza Tahir agenze yeyongera okwelagalaga n’okwemanya naye, buli muntu alina ennakuze, era ez’abamu zibeera nnyimpi ate ezabalala zo zibeera mpaavu. Ne wankubadde yali mwegendereza nnyo obuttakkiririza ddala kwetaba mu Mubahila gwonna Mirza Tahir oluvannyuma yakola ensobi nnamuzisa era ssemasobi mu mwaka ogwa 1999. Gwali mwezi gwa June 1999, bweyali omwami Illias Suttar nga akubaganya ebiroowoozo n’omwami Muhammad Usman Omukadiyani ali ku ddaala ly’Omurrabbi mu kibuga Karachi, ekye Ggwanga lya Pakistan, awo mu kwogeraganya kwe baalimu nga enaku z’omwezi 3rd June 1999 omwami Muhammad Usman we yaweera omwami Illias Suttar akatabo akaliko ebigambo ebigamba nti “Challenge of Mubahilla to the Entire Muslim Ummah” ekkivvunulwa nti “Okusoomooza kw’okukolimiragana eri Ummah y’obusiraamu yonna” ekyafuluma nga 10/6/88. Era  bw’atyo ne yeewaayo okuyimirira mu bigere bya mukamawe, Mirza Tahir bakolimiragane era nga akola kino okukakasa Amazima n’Obutuufu bwa Mirza Ghulam Ahmad kadiyani. Kino kyayanirizibwa mangu ddala muganda waffe Illias Suttar.

 

Oluvannyuma nga wayiseewo akaseera eyo mu mwezi ogwa July 1999, bwe yali mu lukuhhaana lwabwe lutabamiruka oluyitibwa Jalsa Salana mu kibuga London, Mirza Tahir yalangirira nga ali mu nkuyanja y’abagoberezibe 18,000 abaali bakuhhanidde mu Izlamubad eky’omu kabuga Surrey mu Bungereza, n’alangirira nti akkiriza basisinkane bakolimiragane. Yatandikirawo okutuuma mwami Illias Suttar buli kika kya linnya elivuma nga gano “Karachi ka Jaahil”, “Lalloo panjoo”, “Airaa Ghairaa Nattoo Khairaa”.

 

Oluvanyuma lwe nnaku 20 zenyini nga Mirza Tahir amaze okkirizza okwetaba mu Mubahila, ekibonerezo kya Allah ky’amukako bwe yali mu kulambula e Ggwanga lya Norway. Bwe yali ayogera eri olukuhhaana, bagenda okulaba nga taky’asobola kwogera bulungi era mangu nnyo yatekebwa mu nyonyi n’atwalibe mu kibuga London era yamalira ddala weeks eziwera nga tewali amanyi bimukwatako.

 

Bino byebyaliwo mu kukolimiragana n’ebyo ebyabivaamu nga bwe byatubulirwa muganda waffe Illias Suttar.

 

Okuvvunula:

 

Mirza Tahir alangirira omubahila ne Illias Suttar ku T.V. y’Abahmadiyya.

 

Nga ennaku z’omwezi 30th July 1999 ku mukolo ogwa Jalsa Salana mu kibuga London, mu maaso g’enkuyanja y’Omukadiyani omuyitirivu eyali eyo mu 18,000 eyaseyeguka okuva mu buli kasonda k’ensi yonna.

Omukulembeze w’Abakadiyani Mirza Tahir Ahmad kadiyani yalangirira nga bwakkiriza okwetaba mu Mubahila ne Illias Suttar era nga bakozesa omukutu ogwa T.V y’aba Ahmadiyya byasasanyizibwa ensi yonna. Ebimu ku bigambo ebyayogerwa bye bino wamanga:-

 

Mu kaseera kano nga sinnagenda wala, kansooke okubabulira ebikwata ku bungi bwa abantu abazze ku lukuhhaana luno. Idrees Saheb yaakampa kati olukalala lwabwe. Agambye nti abantu olusose basingira ddala wala abo abaali wano ku lunaku olw’asembayo mu lukuhhaana lwaffe olw’asembayo, omwaka oguwedde.

Al Hamudulillah Summa Al-Hamudulillah. Omwaka oguwedde twali abantu 17,500 so ngate olwaleero tuli abantu 18,500….wabula waliwo omu JAAHIL (atamanyi) nga ali mu kibuga Karachi agezaako okukola Omubahila… abayivu muffe basaana bakimanye nti si mulimu gwange okusisinkana buli kinyenyenkule ekinsoomooza okukola Omubahila, okugwetabamu yadde oba nze okusoomooza.

Naye sikimaanyidde ddala lwaki abantu tebategeera. N’olwekyo eriyo  ba Murabbi Sahebaan baffe babiri abaagwa mu katego k’abalabe baabwe ne babayita babeeko bye bakubaganyako ebiroowoozo. Yye (Illias Suttar) yajja n’ekigendererwa ekyokuwagikawo Omubahila. Era bwatyo bwe baali mu kukubaganya ebirowoozo n’akikola. Yadde kiri bwe kityo, si kya tteeka gyendi, olw’ensonga nti nze sinnaba ku mudiza kusoomooza okwo. Era sikakibwa kukkiriza kusoomoozebwa okwo. Singa nnakkiriza, nandibadde nteekawo obukwakkulizo nga okwagala okumanya ani ali emabegawe? Ani amuyambako? Ani  amukkirizza? Singa anawangulwa, anakkiriza nti Abahmadiyya bawangudde? Naye ebyo byonna nga tubitadde ku bbali ba Murabbias baffe bambi bakkiriza okusoomoozebwa ate ne batakoma awo ne bawayo n’okusoomooza mu linnya lyange. Kati kino kitegeeza ki? Baali tebakkirizibwa kukola kino, naye bambi baali balwanyi ba ggye ly’Abahmadiyya! Bwe batyo bambi ne bakkiriza era NANGE BWENTYO NZIKKIRIZZA. ERA NGA BWE NKIRABA NG’EENDA KUBEERA MU KOLIMIRAGANA OKW’OMUBAHILA.. KINO NKYOGEDDE ERA NKAKASA NTI MU BANGA LYA MWAKA GUMU GWOKKA OMUNTU OYO AN’AKOLA OMUBAHILA NANGE AGENDA KUBEERA NGA AKAKASIDDWA NTI YE MULIMBA”.

 

Omubahila gukakata oluvanyuma lwenjuyi zoombi okukkirizaganya gugende mu maaso.

 

Zaali ennaku z’omwezi 3-June-1999. emboozi eyali eyogerwa ku mimwa gy’abantu kwe kwali okuddamu okwaweebwa Illias Suttar, kw’olwo olunaku  Mukarram Usman Saheb lwe yawaayo okusoomooza kw’okukolimiragana okwa Mirza Tahir, Imam owokuntikko ow’ekibiina eky’Abahmadiyya eri Mukarram Illias Suttar, era lwe lunaku lwe yakwasibwa olupapla lw’omubahila olwaliko ennaku z’omwezi 10-June-1988.

 

Lwo olupapula olw’Abahmadiyya oluyitibwa:Al Fazl International,olwafuluma nga  3rd Sept 1999-12th Sept 1999 lw’asasanya amawulire gano bweluti:

 

“Illias Suttar akkirizza okusoomoozebwa kw’omubahila okwamuweebwa ekibiina ky’Abahmadiyya”.

 

Ate yye Mohammed Zakaria Khan kadiyani, Presidenti wa SHAH FAISAL COLONY QADIANI HALQA.Yagamba bw’ati,

“Okuva Illias Suttar lwe yetadde mu mbuga z’amateeka eza Allah, kati Allah agenda kusalawo, ekyo  ekituufu ate ekisingira ddala obulungi, Insha-Allah;

 

Ate yye Faiza Ayesha (omukadiyani) naye yawereza ebaluwa eya e-mail eri Illias Suttar nga 5th October 2002.

 

“Illias Saheb nga Mirza Tahir bw’alwadde, kisoboka okubeera nga kivudde ku mubahila gwo. Faiza”

faizaayesha@hotmail.com

 

Amawulire gaatandika okusaasaana:

 

MIRZA TAHIR MULWADDE OLUVANYUMA LW’ENAKU 20 BUKYA ALANGIRIRA OMUBAHILA.

LONDON 10th –Sept – 1999

 

Huzoor (Mirza Tahir) yayogeredde akaseera ka dakiika 17-18. nga bulijjo MTA yawerezza ku mpewo okubuulira kuno. Ebikwata ku bulwadde bwe n’okubulawo kwe mu kifo okiyitibwa Alfazal Mosque nga tasaaliramu okumala akaseera, Huzoor yatugambye bw’ati;

 

“…….wabaddewo ebikyamu ku bwongo bwe, ebikyali ebizibu okunyonyola obulungi.

Ensonga enkulu eleeseewo kino ye ya Jalsa Salana. Mbadde nnina  okusisinkana abaami n’abakyala 21,000. obuzito obuli mu kubasisinkana busingira ddala wala nnyo ku obwo obw’okwogerera mu Jalsa. Buli omu ayogera ebizibubye era nnina okuyimirira naye kinnoomu  batukube ebifananyi, bwe bityo ebizibu bigenze byetuuma kunze, era n’enfuna ku bwongo bwange akanyigo……..kyenvudde nsalawo nti ky’amagezi obutagenda mu maaso nga nsoma khutubba…..nsaba Allah anfuulire olubuulira lwange luno entandikwa y’obulamu bwange ennungi bwentyo kye nvudde nvaayo munelabireko n’amaaso gammwe mukakase nti ddala ndi mulamu ddala. Ndi mulamu mu bwongo ne mu mubiri era mbagamba nti byenjogera mbitegerera daala bulungi”.

 

Bino bikopeddwa okuva mu lupapula lw’amawulire olw’Abakadiyani oluyitibwa (Al-Fazl International olwafuluma nga 14th September 1999)

 

ILLIAS SUTTAR  ABUUZA:

 

Bwebeera nga ensonga eyavaako obulwadde bw’ali bukoowu obwa Jalsa, lwaki obulwadde bwamukwata wayiseewo enaku 20 oluvannyuma lwa Jalsa eyo? Yandibadde alwalirawo mangu ddala ng Jalsa yakaggwa. Ate si ekyo kyokka; Eno Jalsa yali ya 34!. yali alwaddeko oba waliyo Khalifa yenna eyali alwaddeko olwenkuhhaana nga ezo era n’alwalira ekiseera ekiwanvu nga ekyo mu Jalsa 33 ezakayita? Lwaki mu Jalsa eyakaggwa eya 33 omwali abantu 17,500 tewalwala?

 

Olupapila olwa Buli Week oluyitibwa Khatme Nabuwwat lwo lwawandiika bweluti,:

  

(London)

Mu makkati g’omwezi ogwa August 1999, omukulembeze w’Abakadiyani, Mirza Tahir bwe yali asoma khutubba mu Ggwanga lya Norway eyamala edakiika 10 zokka, tewali muntu n’omu ku abo abaaliwo eyategeera ekigambo n’ekimu mu ebyo bye yayogera kirabika nti omukolimire ono olulimirwe lwali lusannyaladde. Mangu ddala yatwalibwa mu kibuga London n’abeera mu kaseenge ak’abalwadde abayi okutuusiza ddala nga 9th September. Yali takkirizibwa kulaba muntu yenna yadde okusaala esswala emu bw’eti. Bwatyo bwe yali mu kikolimo kya Allah okumala ekiseera anti yeyakyesabira.

 

Kiyinzika okubeera ekizibu okumanya kiki Abakadiyani kyebaali balowooza mu bwongo bwabwe abo abaali bakimanyiiko nti oluvannyuma lwe nnaku 20, Mirza Tahir takyasobola kwogera ate nga yali yakamala okulangirira okukolimiragana ne Illias Suttar. Kisaana kitegeerwe nti  olupapula luno oluyitibwa Weekly Khatme Nabuwwat bukya lubeerawo, telufulumyangako mawulire gakwata ku kikolimo ekyali kisse ku khalifa w’Abakadiyani yenna. Kuno kwali kusaasira kwa Allah nti omulundi ogusookedde ddala  mu byafaayo by’olopapula luno, amawulire ga khalifa okukako ekikolimo kya Allah  gaafulumira mu lupapula luno Weekly Khatme Nabuwwat. Edduwa esangibwa mu Qur’aan nga omubahila gukolebwa egamba nti: ekikolimo kya Allah kikke eri abalimba.

 

Ebbaluwa ya Ahtesham-ul-Haq Abdul 1zari

Mumbai, India

 

Omu ku abo abalwanyisa Obuhmadiyya/Obukadiyani, omwami Ahtesham-ul-Haq Abdul Bari (nga yali Mukadiyaani) naye yawandiikira Mirza Tahir Ahmad nga 6th August, 2000 bw’ati:

 

Oluvanyuma lw’omubahila n’omwami Illias Suttar, okirabye ekikutuuseeko. Embeera y’obulamubwo nga bweyali, naye oluvannyuma lw’omubahila ekikolimo kya Allah kyakka kuggwe mu ngeri ya kugongobala. Kale osabibwa Osiramuke

 

Maulana Manzoor Ahmed Chinioti, eyali member wa Punjah Assembly; Secretary General, Internal Rhatme Nabuwwat Movement

“Wakayitawo ennaku 20 zokka oluvanyuma lw’okukolimiragana, Mirza Tahir nnakkibwako ekibonerezo kya Allah. Agongobadde nnyo, Allah asazeewo ani mutuufu era ow’amazima era ayolesezza ani omukyamu era omulimba. Atenderezebwe Allah.

Ogwo omwaka gwa kwenyumiriza eri eyakikirira obusiraamu: Illias Suttar”.

 

Lwo olupapula oluyitibwa DAILY HINDUSTAN olwafulumira e Mumbai, India nga 23-4-2003 lw’agamba bwe luti:

 

Mirza Tahir yalangirira OMUBAHILA ne Illias Suttar, mu lukuhhaana olwa Jalsa Salana olwa 34 mu kibuga Londom nga ali mu maaso g’abakiise 18,000 era byonna byalagibwa buterevu ku T.V. awo mu makkati g’omwezi gwa August 1999, Khalifa w’Abakadiyani bwe yali asoma khutubba mu Ggwanga lya Norway, eyamala edakiika 10 zokka era awo we yakoma olulimi lwe ne lwesiba”.

 

OKULAMULA KWA MIRZA GHULAM AHMAD KADIYANI

 

Yagamba:

 

“Yyeee ddala kino kituufu nnyo nti abalimba bwe bakola omubahila n’abamazima, abalimba bafa so ng’ate  bo abamazima basigala bakyali balamu katebule”.

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky’Abakadiyani ekiyitibwa; Malfoozat omuzingo ogwo 9, empampula: 440-441)

 

Era Mirza Ghulam Ahmad kadiyani yawandiika mu lupapula oluyitibwa Alhakm Qadian Newspaper nga 10th October 1907 bw’ati:

“Abalimba bafa nga bo ab’amazima basigala bakyali balamu katebule”.

Era bwe kityo ne kituukirira nti :MIRZA TAHIR NAYE YAFA nga ILLIAS SUTTAR akyali mulamu katebule.

 

Mr. Illias Suttar

President, Sautul-Islam Trust (Regd)

19 Commercial Area, Bahadurabad,

Karachi, PAKISTAN.

Email: illias@super.net.pk

Tel. 4937221

 

Ab’emikwano abasomi mwenna,

Wetwogerera bino kati waliwo Khalifa ow’okutano nga ye MIRZA MASROOR AHMAD KADIYANI ono ye khalifa omupya era ye muzukulu nnakana owa MIRZA GHULAM AHMAD QADIANI. Ekisinga okwewunyisa nti obukulembeze bw’ekibiina kino bw’abantu ba nnyumba emu era bwe kityo bwe kibadde ne kuluno mu lulyo olulangira olw’obwakabaka bw’Abakadiyani, walondeddwayo nate omukulembeze w’eddiini y’Abakadiyani.

Nange ku lw’ekibiina ekilwanyisa obu kadiyani ekiyitibwa: anti ahmadiyya movement IN ISLAM, muwa  amagezi ga bwerere nti, atunulire ekibonerezo okuva ewa Allah omugenzi  gwasikidde ye kyafunye ekyo kimuwe eky’okuyiga.Kirabika nti  amatidde n’ekibonerezo ekiwereddwa kitaawe, olw’esonga nti, ayisizza ekiragiro ekigaana buli Mukadiyani yenna okukubaganya ebiroowoozo n’Abasiraamu oba okubaako omubahila gwonna gwe betabamu. (nze Khabrain Akhbaar, Islamabad, PAKISTAN).

 

Ssebo ow’omukwano, mwami Masroor Ahmad Qadiani Saheb!

 

Ekyo kyokka tekimala okugaana abantu bo okwetaba mu mubahila n’Abasiraamu! Bw’obeera nga ddala omatidde n’obubaka obukujjidde nga buyitira mu mubahila guno, bw’otyo wandibadde olangirira mu lwatu nti Mirza Ghulam Ahmad Qadiani mulimba era bw’otyo osiramuke. Omubahila guno gwali tegukwata ku mazima oba bulimba bwa Mirza Tahir, wabula gw’asinziira ku kusomoozebwa Mirza Tahir kwe yafuna mu 1988 okwali kusinzira ku kibuuzo ekyali nti,: Oba Mirza ghulam Ahmad kadiyani ddala bye yayogera byali bya mazima oba byali bya bulimba. Nawe nkusaba olekulire obu Ahmadiyya era osiramuke. Nyongera okukuwa amagezi abagoberezi bo bonna Abahamadiyya obasabe nabo bakole ekyo kye kimu nga ggwe bwe nkusabye. Insha-Allah, bw’onokola bw’otyo, ogenda kubeera awangudde muno munsi n’oluvannyuma lw’okugivaako. Wabula, singa ekyo okigaano, naawe nkusoomooza n’Omubahila nga owakanya nze kye hhaamba nti,: Mirza Ghulam Ahmad kadiyani yali mulimba mu byonna bye yayogera. Nina esuubi nti  obutafananako nga oyo gw’odiridde mu ntebe, ggwe ogenda kubeera n’obuvumu oveeyo buteesagga tukolimiragane mu Mubahila nga okakasa nti,: Mirza Ghulam Ahmad kadiyani, nga gwe Khalifa we, teyali mulimba wabula naye yali Nnabbi wa Allah.

 

Bw’onokkiriza okusoomoozebwa kuno, ojja kubeera nga ku ludda olumu onywezezza ekifo kyo mu kibiina eky’Abahmadiyya, onywezezza n’okuzzaamu amaanyi mu nzikkiriza y’abagoberezibo ate  ku ludda olulala ensi yonna ejja kukimanya nti kakibe ki oba ki, Mirza Tahir Ghulam kadiyani yali ddala Nnabbi wa Allah.

 

Wassaalam eri abo bonna abagoberera obuluhhamu (hidayah)

 

Dr. Syed Rashid Ali

P.O.Box 11560

Dibba Al-Fujairah, United Arab Emirates

rasyed@emirates

 

Weyongere okusoma ebitabo bino wammanga:

 

Mubahila challenge1992

 

Mubahila challenge 1995

 

Mubahila challenge1997

 

Mubahila challenge 1998

 

Mubahila challenge 2000

 

Ahtesham’s visit to London