Bismillah Al-Rehman
Al-Raheem
LUGANDA
Ani
asinga obulyazaamaanyi okusinga oyo agunzeewo ku Allah obulimba, oba agambye
nti :
Watumiddwa
gyendi (obubaka), sso ng’ate tewanatumwa gy’ali kintu kyonna?(AlQu’ran 6: 93)
Eri,
Mirza Tahir A Qadiani
Imam Jamaat Ahamadiyya ;
16-18 Gressenhall Road,
London SW 18 5QL
United Kingdom
Mw. Mirza
Tahir A. Qadian
Emirembe gibeere eri abo abanoonya era abagoberera Hidaya.
Nze Dr. Syed Rashid Ali ow’ekibiina ekiwanyisa obu Ahmadiyya
(Anti Ahmadiyya Movement in Islam), nkusoomooza ojje tukolimilagane kuntandikwa
y’omwaka ogw’obusiraamu omupya. Nziramu nate okukuwa omukisa osobole okukakasa
eri ensi yonna obutuufu obwa Jajjawo. Mirza Ghulam Ahamad Qadiani,
yemutandisi ow’ekiniina eky’Abahamadiyya eyewangamya ku bwa nabbi, mbu ye
masiya oyo eyasubizibwa era mbu ye Mahdi.
Mirza Ghulam A. Qadiani bino wamanga yabyogera nga agamba mbu
yafunaga obubaka obwamukkako mbu nga buva ewa katonda Yagamba bwati :-
« Mungere ey’obwa nabbi nze ow’amaanyi ennyo nafuna
okubikulirwa obubaka nga buva ewa katonda nga bugamba nti : Kiliba eddaaki
ndiwasa omuwala omukulu owa Mirza Ahmad Baig Hashiarpur. Abantu bano bagenda
okubeera n’obukyaayi bungi nnyo era balintekerawo emisanvu mingi, naye ero
kunkomerero, mu mazima kugenda kubeerawo.
Katonda eyayawukana agenda kumundetera mu buli ngeri yonna
esoboka ne wankubadde nga alibeera emberera oba namwandu. Katonda alijawo ebyo
byonna ebinkalubiriza era olw’obwetaavu, alitukiriza omulimu guno nga tewali
nyinza n’okukiziyiza ».
(Byawandiikibwa mu kitabo ekya Mirza Ghulam
ekiyitibwa Izala –e- Auham, Roohan Khazain Vol 3. P. 198).
Oluvanyuma ng’amaze okusasaanya ekiwandiiko ekyo wagulu,
teyakoma awo, wabula yeyongera okusasaanya ebirala nga agamba bw’ati
« Kino kiteekwa okweyoleka eri abantu nti tewayinza kuberawo nkola nga
y’esinga ukubeera enungamu nga yakugezesa amazima gaffe oba obulimba bwaffe
okujjako eyo ey’obwanabbi bwaffe »
(Byawandikibwa mu kitabo ekya Mirza Ghulam ekiyitibwa
Roohani Khazain vol. 5P. 285 – 286 ; collection of Advertisement
Vol ; I pp.156 – 157).
Tugenda naffe okusinzira ku bubaka obwo wagufu ye
Mirza Ghulam A. Qadiani bw’agamba mbu bwamukkako era mbu katonda nga amulagira
bafumbiriganwe n’omuwala Muhammad Begum, naffe tukolimiragane n’awe.
Okukolimiragana kuno kwa kukolwa nga tugoberera Qur’an 3: 61 awamu n’enkola
n’enjigiriza eya Nabbi wange Muhammad (S.A.A.W) era tugoberere n’enjigiriza eya
nabbi wa nze gwempita ow’obulimba Mirza Ghulam A. Qadiani.
Enjuuyi zombiriri zigenda okutuula nga zitunuliganye
nga ziri mu maaso g’abantu bonna, era wabelewo abajuliza bana okuva ku buli
ludda. Ffenna tugenda okulayira ngo bwe tukutte Qur’an entukuvu era tugambe bwe
tuti:
·
Nze nga nsizira ku biwandiiko ebyo wagulu ngenda okulayira nga ngamba
nti: Mirza Ghulam A. Qadiani yari mulimba era eyewangamya mu bukyamu ku bwa
nabbi.
·
Mirza Tahir! N’awe olayire nga ogamba nti: - Mirza Ghulam A. Qadiani
yali muntu ow’amazima era nti n’obubaka obumulagira bafumbiriganwe n’amuwala Mohammadi
Begum bw’atukirizibwa era n’olwekyo nabbi omutuufu owa Allah.
Oluvanyuma
olw’okulayira okwo ffembi tulyoke tukolimiragane nga tusabe Allah asse obusungu
bwe ku oyo yenna omulimba mu bbanga eritasukka omwaka ggumu okutandikira ku
lunaku lwetunakiriziganyaako okukolerako omubahila guno:
Ekofi: ALFAZI MOSQUE, 16 – 18 GRESSENHALL ROAD LONDON
SW 18 UNITED
KINGDOM.
Olunaku: OLUNAKU LWANNA MIRZA TAHIR LWANALONDA
Seebo Mwami Mirza Tahrir,
Owereddwa emyezi esatu ukutandika nga enaku ez’omwezi
olusooka mu mwezi ogwo ku taano omwaka ogwe 2000 (from Ist May, 2000)
tusisinkane okukola omu Bahila. Nziramu okukikkairiza nate nti gunno mukisa
gy’oli ogwa zaabu ugukuwerebbwa osobole okukakasa ensi yonna oba nga ddala
Jajjawo era eyatandikawo ekibina ekya Abahamadiyya, Mirza Ghulam Ahmad Qadiani,
yali matuufu bwe yerangirirako obwa nabbi, era nti Katonda mu mazima
yamubulirako ku bikwatagana n’okufumbiriganwa kwabwe, yye n’omuwala Mohammadi
Begum era nti n’obubaka buno nabwo bwatukizibwa.
Singa Ssebo
onolemererwa okukiriza okusoomoozebwa kuno tukolimiragane, ekyo kinaaba
kitegeeza nti okigenderera bugenderezi okukusika ekituufu era buno bugya
okubeera obukakafu obwenkukunala obwoleka nti okimanyidde ddala nti Mirza
Ghulam yali MULIMBA mu byeyayogera era nti yali MULIMBA mbu yakkangako obubako okuva ewa
katonda era okusinzira ku ebyo teyali nabbi owa Allah.
KAKATI
TUTUNULIREKO KU KIGAMBIBWA MBU BWE BW’ALI OBUBAKA
OBUMULAGIRA MBU
BAFUMBIRIGANE N’OMUWALA MOHAMMADI BEGUM.
Bino
ebigambo wamanga byakoppwa okuva mu bimu ku bitabo ebyawandiikibwa Mirza
Ghulam A. Qadiani ng’agamba nti yafuna obubaka obumulagira bafumbiriganwe ne
Muhammadi Begum:
“Bwembeera nga bye njogera ge mazima, Katonda olwo
agenda okusobozesa obubaka bunno (obw’obunabbi) okutukirira. Naye ete
bwebibeera nga ebigambo bino byenjogera si bigambo bya Katonda, kale enkomerero
yange (okufa kwange) kugenda kubeera nga kunyoomoofu nnyo* era obubaka bunno
tebugenda kubeera nga butukirizibwa? Nsaba Ai omulezi waffwe!
Beera ng’olamula wakati waffwe n’abantu baffwe
mumazima, kubanga mazima gw’osingira ddala okubeera omulamuzi aw’abo
abalamula”.
Nga maliriza nsaba Ai ggwe Katonda omuyitirivu
w’amaanyi era omuyitiivu w’okumanya: Bwe bubeera bg’obubaka obw’obunabbi
bwenayogera ubukwata ku kibonerezo ekiruma ekiriweebwa Atham era n’obwo
ubugamba nti tufumbiriganwe n’omuwala wa Ahmad Baigi, nga byonna by’ava gy’oli
kale nsaba Katonda ebyo byonna bitukirire nga biri mu mbeera enefuuka akabonero
eri ebitonde bya era n’emimwa egy’abantu ab’emyoyo egyaddugala gizibikirwe.
ERA AYI GGWE
ALLAH! BWE BUBEERA NG’OBUBAKA OBW’OBUNABBI BUNO TEBUVA GY’OLI, NKUSABA ONZITE
NGA NDI MUNYOOMOOFU ERA EYEKUBAGIZA ERA BW’EMBERA NGA NZE NDI MUKOLIMIRE ERA
ALEKEDDWA AWO ETTAYO ERA NGA NZE DDAJJAL, MU MAASO GO, NG’ABALABE BANGE
BWEBANDOWOOLEREZA OKUBEERA, ERA, NGA BWE KUBEERA NGA OKUSAASIRAKWO TOKUSIZZA KU
NZE NGA BWE WAKUSSA KU ISHMAELA ERA NGA BWE WAKUSSA KU ISA MUTABANI WA
MAR’YAM ERA NGA BWE WAKUSSA KU
MUHAMMAD (S.A.A.W) OYO NGA YASIINGA BA NABBI BONNA ERA NGA BWEKIRI KU ABO
ABATAASA BA UMMAT ENO; NKUSABA AYI ALLAH ONSANYEEWO, ERA ONZITIRE MUMBEERA
EY’OBUNYOOMOOFU ERA NKUSABA OSSE EBIKOLIMO BYO KU NZE, OSANYUSE ABALABE BANGE
ERA OKIRIZE N’OKUSABA KWABWE.
Naye ete bwe
kubeera nga okusaasira kwa wakussa ku nze era bw’obeera nga ggwe wayogera
gyendi nga ogamba nti: “antaa waheehee fi hadhratee, akhtertaka li natsee”
(ggwe oli wa kitiibwa gyendi nze nakwelondera) era bw’obeera nga ggwe wagamba
nti: “Ya Eisa! Allazee laa yuda’a waqtehee?” (Allah tayinza
kumalira baddu be?) era bw’obeera nga ggwe wagamba nti: qul inee umirtu wa
ano awwalul mu’mineen (Gamba nti ngondedde amateekaago era nze mukkiriza
akulembera) era bw’obeera nga kumpi buli lunaku ggw’ogamba nti: “antaa ma’ee
wa ma’ak” (oli wange era nange ndi n’awe).
Ebyo byonna
bwebibeera bwe bityo nkusaba onyambe era onyweeze ng’ompanirira. Wa innee
maghloobun fantaser (era nze mpanguddwa, n’olwekyo nkusaba onyambe).
Nze Khaksaar Ghulam Ahmad
Okuva mu Qadian,
District eye Gurdaspur,
Dated 27th
october, 1894.
(Bikoppeddwa okuva
mu kitabo: Collection
of Advertisement Vol. 2p. 115-116).
Mu 1896, Mirza
Ghulam Ahmad Qadiani ya kikkatiriza nti obubaka bwe yali ayogera mazima ddala
bwo bw’ali butufu era teyalina kubuusabuusa ku bikwaata n’eby’okutukirizibwa
okw’obubaka bunno. Yeyongera okugenda mumaaso nga era akkatiriza bw’ati:
Kino nkidingana
buli kiseera nti omulamwa ogw’obubaka bunno kwe okufa okwa mukodomi wa Ahmad
Beg (ono nga ye sultan Muhammad) okukakasibbwa nga bwe kwatekebwatekebwa - mmwe
kati
Mukulindirire!
“BWE MBEERA NGA NZE OMULIMBA ERA NGA N’OBUBAKA OBW’OBUNABBI BUNO NGA TEBUGENDA
KUTUKIRIZIBWA KALE NSABA OKUFA KWANGE KUBEREWO,”
(Bino
bya koppwa mu kitabo ekiyitibwa:
Anjam-e-Atham p- 31 Roohani Kazain vol. 11 p; 31, footnote).
Okusinzira ku
bigambo ebya Mirza Ghulam Ahmad, kyo kyelagabwelazi nga bweyali omumativu nti
bagenda kufumbiriganwa ne Muhammadi Begum. Naye nga kiswaaza!
Newankubadde mbu
yakakasibwanga katondawe emirundi egiwerera ddala, okufumbiriganwa kuno
tekwabeerawo na bwekityo obubaka obwali bugambibwa mbu yabufuna
tebwatukirizibwa. Nekibeera nga kyeyongedde okukakasa nti ddala obubaka obwo
bwo bw’ali tebuva wa Allah wabula bwali buva wa sitaani era nti Mirza Ghulam Ahmad Qadiani
YALI MULIMBA OMUTENDEKE OMUKULU. Ebyo tubyogera nga tusinzira okuva kubigambobye
binno:
“Kino kisaana
kitegerekeke eri abantu bonna nti teliyo kubo ddala nga lya kutegeeza amazima
oba obulimba bwaffe okujjako nga tusinzira ku bubaka obwobunabbi obwa
tusindikirwa Katonda”.
(Bino
byakoppwa okuva mu kitabo. Roohani Khazain Vol. 5 P. 258- 286; Collection of
Advertisements Vol.1p 156- 157).
Seebo Mirza Tahir Ahmad Qadiani (ono nga kati ye
mukulembeze owa aba Ahamadiyya mu nsi yonna- 4th Khalifa) tukusaba oleme
okugezaako okwebalankanya n’otabeerawo mu kukola omubahila guno- ng’era
bw’obadde okola ku mirundi egiyise. Beera omusajja emekete, omuvumu, ateelya
ntama, olekere awo okulimbalimba abagoberezibo bambi bo tebamanyi, era wakiri
fuba guno omulundi oyolese eri ensi yonna nga bw’okkiririza mu bunabbi obwo ate
nga ggwe khalifa wabwe.
Wassalamun ‘ala mun ittaba’a alhuda
Dr. Syed Rashid
Ali
May 2, 2000
EKIKOLIMO KYA ALLAH KIKKE ERI ABO ABALIMBA
CURSE
OF ALAH BE UPON LIARS)
Anti
Ahmadiyya Movement in Islam
Dr. Syed Rashid
Ali
P.O Box 11560
Dibba Fujairah,
United Arab Emirates,
Tél: 9719 2 44 7337 Fax 9719 244 2846