Bismillah
Al-Rehman Al-Raheem
Amazima bwe gajja, bwo
obulimba busanawo ; bwo obulimba amazima bw’ali bulina kusanawo
(Abu Dawood)
Ffe : Dr Syed Rashid
Ali ne Ahtesham-ul-Hag Abdul Bari
(ono nga yye
yaliko omuhamadiyya)
nga tuli mu Kibiina
ekiyitibwa :
Tutaddewo
Nga
kyakuweebwa eri oyo yenna :
Omu
Qadiyani oba omu Ahmadiyya awakanya ebigambo bino wamanga.
Abange mmwe ab’emikwano Aba Qadiyani / Aba Ahmadiyya !
. Mukkiriza nti Mirza
Ghulam Ahmad Qadiani musajja owa mazima, si bwekiri ?... Ddala ddala ekyo
bwekiri.
. Mukkiriza nti Mirza
Ghulam Ahmad Qadiani ye Imam Mahdi era nga n’okujjakwe kwalangwa Nabbi Muhammad
(S.A.A.W) ? Ddala ddala ekyo bwekiri.
Mukkiriza nti Mirza Ghulam Ahmad Qadiani tayinza kubeera mulimba era
eyekuba endobo ? Ddala ddala ekyo bwekiri.
. Nabwemutyo mukkiririza mu biwandiiko ebya Mirza Ghulam bino wamanga,
si bwekiri ?
Mirza Ghulam yagamba bw’ati :
*”Ebiwandiiko eby’omuntu nga wa mazima, omugezigezi era nga mwesimbu
tebiyinza kubeera nga bikontana mungeri endala, ddala kikakafu nti singa omuntu
yenna abeerako ekikyaamu ku bwongo obubwe oba nga mulalu era nga mu
bunanfunsibwe eno abeera nga awanawana ate nga eno bw’amala gakiriza buli kintu
; ebigambo oba ebiwandiiko eby’omuntu oyo tewali kubuusabuusa bibeera biteekwa
okukontana”.
(Bino byakoppwa okuva mu biwandiiko ebya Mirza A. Qadiani ebiyitibwa :
Sat Bachan, Roohani Khazain Vol. 1P p. 142).
*”Omuntu yenna nga talina kikyaamu kubwongobwe era nga n’amagezi alina
tasobola kukiriziganya n’endowooza oba enzikiriza biri nga zona zawukana” (Bino
bya koppwa okuva mu biwandiiko ebya Mirza Ghulam A. Qadiani : Izala-e-Auham,
Roohani Khazain vol. 3 p. 220.
*”Ebiwandiiko oba ebigambo eby’omulimba biteekwa buteekwa okubeeramu
ebikontana (Bya koppwa okuva mu kitabo : Zamina Braheen Ahmadiyya part 5
Roohani Khazain vol. 21 p. 275.
Abange mmwe
abemikwaano Aba Qadiani / Aba Ahmadiyya !
Mu mazima mmwe mukakasa era mukkiririza mu bigambo ebya Mirza Ghulam A. Qadiani ebyo waggulu.
Nabwekityo naffe wano tubawa omukisa nate okukakasa n’okwolesa eri ensi yonna :
kigero ki eky’obukkiriza kyemulina mu Mirza Ghulam Ahmad Qadiani era
n’okukakasa oba ddala ekubo lye mwakwata nga lyelyo egolokofu oba nedda si
kulwa nga babayiringisiza mu kigaali ne babalimba limba ekubo egolokofu ne
balibayisaako ? Musabibwa musome ebigambo bino ebya Mirza Sahib wamanga
n’obwegendereza : mubisome okuva kunjuyi zonna – waggulu ne wansi, kuddyo ne
kukkono era nga mukakasa nti tewali kigambo nakimu kye mubuusiza amaaso ne
mutakitegeera.
“Ensonga kye Iyaava elinya “Mahadi” liletebwa enga bwe lya tunyumizibwa
eri bw’eti : Tagenda kubeera ng’asomesebwa bayivu wabula wa kubeera n’alungamizibwa
Katonda. Mungeri y’emu nga Katonda bwe yalugamya nabbi we Muhammad (S.A.A.W.).
oyo eyafuna okulungamizibwa n’okumanya ng’abijja ku Katonda yekka”.
(Bino byakoppwa okuva mu Kitabo ekya Mirza : Najm-ul-Hudda, Roohani
Khazain vol. 14 p. 90).
Nabwekityo, omuntu agenda okujja yatuumwa Mahdi ; era kano nekabeera nga
ke kabonero akalaga nti omuntu agenda okujja talibeera muyizi wa musomesa yenna
owa Qur’aan oba Hadith wabula wa Kufuna okuyigirizibwa okwe ddiini nga akujja
ku Katonda. Era bwentyo nange NDAYIRA MU LINYA LYA KATONDA nti eno yembeera
yange yenyini ! Tewali ayinza okuleeta obujulizi obunumiriza nti nali
nsomeseddwaako mu fassir (omuvvunuzi owa Qur’aan) oba omu Haddith (omukenkufu
owa Hadith) ale kabeele esuula emu bw’eti. Nabwekityo buno obwa Mahdi bwe
ntuuseko buli ddala mu musingi gwe gumu n’obwa nabbi obwa Muhammad”
(Bikoppedwa okuva mu kitabo ekya Mirza Ghulam Ahmad Qadiani :
Ayam-us-Sulh Roohan Khazain vol. 14 p. 394).
BWEYAMALA OKWOGERA EBYO ATE N’AGAMBA BW’ATI :
“Okuva mu buto bwange, okuyigirizibwa kwange kwali bwe kuti : Bwenaweza
wakati w’emyaka 6-7 egy’obukuu, bandetera omusomesa omu Farsi ansomese Qur’aan
entukuvu era awamu n’ebitabo eby’olulimi olu farsi era ng’omusomesa ono elinya
lye yayitibwanga Fazal Ilahi. Ate bwe naweza awo emyaka nga kumi (10)
egy’obukulu, bandetera omusomes ow’oruwarabu ansomese, elinyalye yali ayitibwa
Fazal Ahmad---- Ate bwenaweza wakati we myaka 16-18 egy’obukulu nafuna omukisa
ogw’okusomesebwa omu Molvi Sahbi, elinya lye yali ayitibwa Gul Ali Sha”.
(Bino bikooppeddwa okuva mu kitabo ekya Mirza Ghulam : Kitab ul Bariyah,
Roohani Khazain vol. 13 pp. 180-181.
“Siyinza kweyita nti nze Mahdi nga nsinzira (ku bigambo bino ebya
Hadith) “NG’AVA MU MUTABANI WA FATIMA ERA OWO MULULYO LWANGE” nebirala”.
(Bino byakoppwa mu kitabo ekya Mirza Ghulam : Braheen-e-Ahmadiyya V.,
Roohani Khazain vol. 21 p. 356.
“Ffe tukikkiriza anti ba Mahdi abawerako bandiba nga bajja dda
oluberyeberye era kyandiyinzika okubeera nga ne mu biseera ebijja nabyo bagenda
okujja era kya ndisoboka okubeera nga omuntu omu nga tayitibwa Imam Muhammad
naye bw’atyo yandilabikako”
(Bino byakoppwa okuva mu kitabo ekya Mirza Ghulam : Rohani Khazain vol.
3 p. 379).
Abange mmwe ab’emikwano aba Qadiyani / Aba Ahmadiyya !! Ddala ebigambo
ebyo tebimala bumazi okukakasa n’okulaga obulimba awamu n’okukontana ebya Mirza
Ghulam ? Ddala kisoboka omulimba okubeera nga ye IMAM MAHDI (A.S.) ? Ddala
okyayinza okubeera ng’era nate okyagugubidde ku kya Mirza Ghulam Qadiani Sahib
nti ye IMAMA MAHDI ?
Ku lw’ekibiina ekiyitibwa ANTI AHMADIYYA MOVEMENT IN ISLAM, tutadewo
EKIRABO nga kya rupiiyya RS. 500,000/ = nga za buliwo era nga kya kuweebwa oyo
yenna anabeera nga yonna ey’amateeka mu nsi yonna nti ebiwandiiko n’ebigambo
ebyo byetusomye wagulu byonna bikyaamu ate bya bulimba era nti n’olwekyo Mirza
Ghulam Ahmad Qadiani ye IMAM MAHDI.
Wa maa alainaa ill-alBalaagh
Wassalamun’ala mun ittaba alhuda
Ahtesham-ul-Haq Abdul Bari
Dated 29th Rabi-ul-Awwal 142/June 2000
ANTI AHMADIYYA MOVEMENT IN ISLAM
DR SYED RASHID ALI, P.O. BOX 11560 Dibba
Al-Fujairah, United Arab Emirates.
AHTESHAM-UL-HAQ ABDUL BARI Bhola seth ki Chawl,
Gala
Ho. 15.210 maulana Azad Road, cross lane,
Madanpura,
Mumbai 400 008, India aqmmumbai@hotmail.com