Bismillah
Al-Rehman Al-Raheem
LUGANDA
AL FATWA INTERNATIONAL N° 2
FOUNDER &CHIEF EDITOR : SYED ADUL HAFEEZ SHAH
EDITOR: SYED RASHID ALI
RAB US SANI 1415 H/SEPT 1994
WEGENDEREZE
OBULABE OBUVA MU KIBIINA EK’YABA AHAMADIYYA
NGA
BWOLEKEZEBBWA ERI OBUSIRAAMU.
Mwatu Omusomi waffe,
Kuno kwekuvvunula okusoose
Okwo’olupapula ALFATWA nga kujjibwa mu
lulimi olu urdu
Munsangi zino, aba
Ahamadiyya bafuuse namujjinga mu Busiraamu, nga beefula okubeera abalwanilizi
ab’obusiraamu, bafuuse ekyokoola mu ku kyaamya n’okubuzabuza abasiraamu nga
babolekeza omuliro Jahanam. Mirza Gulam Ahmad n’abagoberezibe kyamala dda
okulangirirwa mulwaatu munsi yonna nga bwe BAAVA MUBUSIRAAMU (MURTAD),
ABAKAFIRI ERA ABATAKYAALI MUBUSIRAAMU, kino kyakolebwa abamanyi ab’obusiraamu
awamu n’amawanga ag’obusiraamu.
Abasiraamu ababbinkira mu
byensi n’abo abatali basiraamu
balina endowooza egamba nti okulwanyisa enjigiriza ey’aba abahamadiyya kuva
kunjawukana mu ntegeera, n’entaputa. Bambi nebatamanya nti Abahamadiya bakozesebwa
abalabe b’obusiraamu era n’akatundu akaleeta enjawukana muntamputa, keeko
kenyini akabinja kano ak’abahamadiya n’abo abalwanyisa obusiraamu kebakozesa
okutukiriza ebigendererwa byaabwe mu by’obufuzi n’eby enfuna munsi
s’obusiraamu. Obulabe obupya eri
obusiraamu kati buli mungeri y’abakulembeze ab’Abaqadian abo aba Ahmadiyya gye
benyigidde mu by’obufuzi, eby’ensi yonna, n’engeri gyebayambamu mu nkukutu
abalabe ab’obusiraamu munda munsi ez’obusiraamu. Omulimu ogw’obukkessi agukola
ayinza okugaggawala amangu naye gubeera mwangu ate nga si gwa bulabe eri
agukola singa yewogoma mu bitiibwa ebyeddiini nga n’abakulembeze nabo ba nda ya
nakalama abomukifo ekyo kyenyine.
Ekigendereddwa mu kufulumya
alupapula luno, kwekumanyisa (oba okutegeeza) abasomi baffe, amazima amekusifu,
agakwaata ku Mirza Ghulam Ahmad ow’eQadiani, eyatandikawo ekibiina
(eddiini) ey’Abahamadiyya ku
Busiraamu, eyeyitanga omununuzi ow’obusiraamu ayasubizibwa era Mahdi
n’akwongera okwanjala kazambi
awembereddwa ekifananyi eky’obwanaddiini asangibwa mu kibiina kino ekyekweese
mbu kikolelera obusiraamu.
Mirza Ghulam Ahmad ow’eQadian yettanirango nnyo okulanga
mu mpapula z’amawulire. Yakozesanga omukisa guno okusasaanya endowoza ze,
okulanga ebitabo bye, n’okusasanya okulagula kwe era n’okuvuma awamu
n’okutiisatiisa abo bonna abanagezangako okumuwakanya n’okuvuma abamuwakanyanga
okutuusa ne kooti yamateeka lweyamusitukiramu !
Nze Mirza Ghulam Ahmad
Qadiani ndayira mu linya ila Katonda nti OKUVA N’OLWALEERO.
. Ngenda okwewala
okusasaanya ; okulagula kwona nga kuwa amakulu agalaga nti omuntu yenna (a’be
Musiraamu, oba mu Hindu oba mu Kristayo anatyooboolwa oba anafuna ekibonerezo
okuva mu Ggulu.
. Era ngenda kwongera
okwewala okusaba Katonda okwengeri eno nga kwa kukakkanya omuntu yenna oba
okulaga akabonero konna akategeeza nti omuntu afunye ekibonerezo okuva eri
Katonda ; oba okwolesa ani omutuufu oba omukyaamu nga waliwo okukubaganya
ebilowoozo ku bye ddiini.
. Nate era ngenda okwewala
okusasanya ekintu kyonna nga kyefananyiriza ku kubikkulirwa nga bekigendelerwa
kwekulaga ani anakakkanyizibwa oba okutusibwaako ekibonerezo okuwa ewa Katonda.
. Mubuyinza bwange bwonna ngenda okulagira
abo bonna era ngenda okusaba abo bonna benkulembera, okugoberera ekubo ly’elimu
n’ange lye neyamye okukwaata nga bwe lyogeddwako waggulu.
Nze asizaako omukono : Mirza
Ghulam Ahmad
Abadewo ng’omujulizi : Khawaja
Kamaluddin BA Lib.
Omulamuzi asizako omukono : J. M. Dowie
Omulamuzi owa Distriet ey’eGurdspu
(District Magistrate, Gurdaspur).
Enaku z’amwezi 24th Fevruary,
1899 (Binno biri mukitabo ekiyitibwa Roohani Khazain Omuzingo 15 olupapula
430 – 50).
PS : Mirza n’abagoberezibe baze
badingana mukumenya endagaano eno emirundi mingi wano jjo ly’abalamu ma mwaka
1989 Mirza Tahir (ono nga ye mukulembeze owa aba Ahamdiyya aliko kati)
yasoomooza abasiraamu munsi yonna bakungaane bakolimiragane ng’abayita
abalimba, abatakkiriza (abakafiri) n’ebirala. Era n’asaba bakolimirwe bwatyo
n’ayolesa nga bo benyini bwe batassa kittibwa mu oyo ayeyita Nabbi.
Kale yali Nabbi ki oyo eyeyama mungeri
eteeka emirimu gye mu katyaabaga!!
Era yali Nabbi ki oyo eyeyama mungeri
eteeka emirimu gye mu katyaabaga !!
Era yali Musiraamu ki oyo (nga
mwotwalidde n’ekitiibwa kye), atawa kitiibwa oba okussa ekitiibwa mu ndagano ze
!!
Fatawa Alamgiri :
“Singa omuntu yenna takkiriza nti Hazrat
Muhamad (S.A.A.W) ye Nabbi ow’enkomelero oba n’ayogera nti “nze ndi nabbi” nga
ky’ategeeza nti asobola okufuna n’okutuusa obubaka, oyo naye abeera afuuse
omukafiri.
(Fatwa Hindiah Omuzingo 3 olupapula
263)
Qazi Ayadhin AqShifa :
“Mungeri yeemu oyo yenna agamba nti omuntu omulala
asobola okubeera nabbi oluvanyuma lwa nabbi Muhamadi (S.A.A.W). Oba
neyelangirilako obwa Nabbi ye kenyini oba ng’alowooza nti okufuna obwa Nabbi
kisoboka nga wetukuza mu mutima... mungeri yeemu n’oyo yenna agamba nti afuna
okubikkulirwa ne bwa’abeera teyerangirirako bwa nabbi bulambalamba... ABO BONNA
BABEERA BA KAFIRI kubanga bawakanya Nabbi Mahmmadi (S.A.A.W) olwensonga nti YYE
(Muhammadi (S.A.A.W) yatubulira dda nti YYE yewenkomerelo mu ba Nabbi bonna era
nti YYE yeyasindikibwa eri abantu bonna. Ummah yonna kino ekyegattirako
okusinzira ku Qur’an Entukuvu, sunnah (enjigiriza ya Nabbi) era ne Ajma’a
(okwegatta kw’abasiraamu) . Obu KAFIRI ob’abantu bwebutyo bwa kipempe (bwa
namadala).
“N’oyo awakanya okusalawo kw’abasiraamu
bonna (Ajma’a) eri abo abeyita ba Nabbi nti bakafiri, naye mukafiri”.
Ahmed Raza Khan:
. Aba Qadiyani si Busiraamu era Bananfusi.
Ab’ava mu Busiraamu (Murtadi). N’omunanfuusi ye muntu newankubadde nga yayatula
kalima, nga yeyita n’omusiraamu, y’abeera ng’avoola ekitiibwa kya Allah ne
Nabbi (S.A.A.W) era awamu ne ba Nabbi abalala oba ng’awakanya akatundu konna mu
njigiriza y’obusiraamu.
. Imam omu Qadiani bwa kukulembera mu swalah,
eyo ebeera nfu.
. Tokkirizibwa okuwa omu Qadiani Zakat.
Aba Qadiani ba kafir, n’eyama gye basaze eri Haram.
. Singa Abasiraamu basalawo okuriza okutabagana n’aba Qadiani
kyokka omuntu n’akitwala ng’ababa banyigirizibwa era nga n’ekikolwa ekyokuzira
nga nakyo kikolwa kya kunyigiriza, oyo naye aba avudde mu Busiraamu.
. (Ekitabo : Ahkam-e-shariat
omuzingo 1 empapula 112, 128, 139, 177).
OKW’OLUKIIKO OLW’EGWANGA LYA PAKISTANI :
Nga enaku z’omwezi 7th
September 1974, Govumenti eya Pakistani yafuuka ensaale mu mawanga
ag’obusiraamu,kyatwala emyezi 6 nga palamenti eteesa era n’okuwa abakulembeze,
aba Qadiyani eddembe elijjuvu oly’okwelwanako, oluvanyuma olukiiko olwa
Palimenti olumanyiddwa nga National Assembly of the Islamic Republic of Pakistani
lwa’ salawo nti aba Qadiyani oba aba Ahmadiyya oba aba Lahoris
SIBASIRAAMU mu Pakistani era ne ssemateeka (Constitution) ow’egwanga
Pakistani n’ekyusibwamu nga egamba bweti.
“Omuntu yenna bw’abeera nga takkiriza nti Nabbi
Muhammad (S.A.A.W) y’owenkomelero mu ba Nabbi bonna atabusibwabusibwa oba,
ng’omuntu oyo eyiyeta Nabbi, oba amakulu gonna agali mu kigambo ekyo, oba
entitotola kebele etya ng’egobererwa oluvanyuma olwa Nabbi Muhammad (S.A.A.W)
oba okutongoza oyo yenna eyeyita Nabbi, tabeera Musiraamu olwekigendelerwa kya
ssemateeka.
(Constitution or Law)
OKUSALAWO OKWA RABITA ALAM-E-ISLAM :
Mu mwaka 1974 abamanyi (abayivu) mu busiraamu nga baava mu
mawanga ag’obusiraamu 144 basisinkana ne batuula mu kibuga Makkah ne basalawo
awataali kye kubiila nti Aba Qadiyani oba aba Ahamadiyya ba KAFIR, nebaba nga
bagobeddwa mu luganda olw’obusiraamu.
(Resolution of Rabita Alam Al-Islami
1394H)
w omukwano omusoni,
Nga tukozesa ensalawo ezo waggulu, ate
katutunulireko Okulanga (okulagula) okwe’emirundi esatu okwali okwobulimba
Mirza Ghulam kweyakola okwasinga okwtikiliza.
Kiri
kigendelerwa kya Katonda nti alileeta abakyala babiri banfumbirwe. Omu alibera mbelera
ate omulala Namwandu. N’olwekyo okwolesebwa kuno okukwatagana ne BIKRA
(EMBELERA) kumaze okutukirizibwa era olw’okusasira okwa Katonda kati nina
abaana abalenzi bana okuva mu mukyaala ono. Nkyalindilira okutukirizibwa
okw’okwolesebwa okukwatagana ne NAMWANDU.
(Byawandikiibwa mu Roohami
Khazain omuzingo 15 olupapula 201).
Oluberyeberye Mirza sb
yayagala awase omukyala ng’asinzila « ku kubikkulirwa » mbu
okwomuggulu » naye omuwala ne kitaawe nebagaana ne bamufumbiza omusajja
omulala, olwo nno Mirza sb nafuna ate « okubikkulirwa okulala mbu okuva
muggulu » era nga kuluno omukyala ateekwa buteekwa kumufumbirwa, mu buntu
bulamu oba mubukuusa.
KYEYAVA
AGAMBA BW’ATI :
Tekiri
ekiragiro kimu wabula biri ebiragiro mukaaga ebisangibwa mu kulagula kwange :
.
Ndibeera mulamu okutuusa ekissera wendimuwasiza.
.
Taata w’omuwala atekwabuteekwa okubeera omulamu okutuusa nga ekiseera
eky’okuwasa muwalawe kituuse.
.
Oluvanyuma olw’okumufumbiza wayitewo emyaka 3 Taata womuwala afe.
. Bba
w’omuwala afe mu banga lya myaka ebiri n’ekitundu.
.
Okutuusa nga maze okumuwasa; omuwula oyo ateekwa okubeera nga mulamu (tanafa)
n’ekisembayo.
.
Oluvanyuma olw’okufuuka namwandu, nebwewanabeerawo okuziyizibwa ateekwa
okunfumbirwa.
(Ekitabo
Roohani Khazain omuzinfo 5 olupapula 325).
(Ekitabo Al-Bushra omuzingo 2 olupapula 105)
Mu
mazima eriyo Qadiyani oba omu
Ahamdiyya yenna ayinza okutubulira ani eyali NAMWANDU oyo Mirza Ghulam gwe
yawasa ? Mumazima Mohammadi Begum yafumbirwako ku Mirza nga Mirza tannaba okufa
? Ekyewunyisa omwami n’omukyaala bonna webali balamu emyaka 35 bukya Mirza afa
!
Ensi
yonna ekimanyi nti Mirza Ghulam yafira mu Toilet obulwadde obwa kolera
(Cholera) mu kibuga LAHORE ekiri mailo 5,000 (8,000 km) okuva mu Bifo (Makah,
Madina) weyalagula nti walifira !
EBY’OKULABIRAKO EBY’OBUKAFIRI EBYA MIRZA
QADIAN
.
Ebigambo bya Katonda byanzijira bingi nnyo era singa bikunganyizibwa
bitungibaamu ebitabo 20. (Roohani (Khazain omuzingo 22 olupapula 407).
.
Owange gwe Mirza naawe wava munze ng’omwana wange. (Ekitabo Tazkirah
olupapula 142).
. Omusingi ogw’ebigambo byange si Hadith (ne
Nabbi S.A.A.W) wabula Qur’an n’okubikkulirwa ebikka gyendi, kituufu, mu
kuggumiza, tuzileeta Hadiths ezo eziriziganya ne Qur’aan entukuvu era
ezitakontana na kubikkulirwa. WABULA HADITHS ENDALA TUZIKASUUKA ERI NG’EBISANIIKO
(Ekitabo
Roohani Khazain omuzingo 19 olupapula 140).
.
Nabbi (S.A.A.W) teyategeera bulungi amakulu ag’essuula Za-zalzalah ‘Surat 99).
(Ekitabo Roohani Khazain omuzingo 3
olupapupa 166).
. Amakulu aga Qur’aan amatuufu
gayolesebwa nze (Ekitabo Roohani Khazain Omuzingo 17 olupapula 454).
KATI
KIRI ERI OMUSOMI OKWESALIRAWO KW’EBYO EBIKWATA KU KIFO EKYA MIRZA GHULAM AHMAD
MU BUSIRAAMU. WANO WENSABIRA ABA QADIYANI OBA ABA AHMADIYYA BONNA
AKUFUMINTIRIZZA KU BWINNO ONNO YENNA GWE TULEESE. OBUKKIRIZA BWAFFE KY’EKISINGA
OKUBEERA EKY’OMUWENDO MU BULAMU BWAFFE, TOKKIRIZA KUBULEKA BUZIKILIRE. TUSABA
ALLAH ASSE OBULUNGAMU (HIDAYAH) ERI ABO BONNA AB’A AHAMADIYYA OBA ABA QADIYYANI
BAYINGIRE MU BUSIRAAMU – AMMINA
Tujja kwenyongera okugenda mu maaso
n’okwanika oba okwanjala ebikolwa ebikyafu era ebivundu ebya Ahmadiyya
byebolekezza eri obusiraamu.
Tutukirire
ng’oyita ku lutambi olwempuliziganya olwa internet bwoti :
Email
: rasyed@emirate.net.ae
KIINO KIBIINA KYA BUSIRAAMU oba kuno KWETUKUZA OKWOBUKUUSA ?
Eby’okusoma Eby’obwerere, tuwandiikire
oba kuba essimu :”
ANTI AHMADIYYA MOVEMENT IN ISLAM
Dr Syed Rashid Ali
P.O. Box 11560,
Dibba Al-Fujairah,
U.A. EMIRATES,
FAX :
97 192 442846
WETEGERE : Roohani Khazain
ly’ekungaaniro ely’ebitabo ebyawandiibwa Mirza Ghulam Ahmad Kadiani.