OMUTANDISI
W'EKIBIINA EKY'ABA
AHAMADIYYA YAVUMA
NABBI MUHAMMAD (S.A.W.)
Biwandiikiddwa Dr.
Syed Rashid Ali
Amateeka gonna ga Allah, ali obw'omu era ali obwa Nnamunigina. Okusaasira n'emirembe bike ku Nnabbi Muhammad (S.A.W) oyo oluvanyuma lwe teri Nnabbi mulala.
Abangereza bwe b’awamba obufuzi nga ba bunyaga ku Basiraamu aba Ssemazinga wa Buyindi; abasiraamu batandika okwekalakasa entakera era ne ba lwanilira e Ddiini yaabwe. Kino ky'awaliriza obwakabaka bwa Bungereza okulondawo akakiiko kabulirize era kazuule awamu n'okutema empenda butya endowooza y'okulwanilira obusiraamu (Jihad) bwe kakkanyizibwa, kabe kasinge, n'okusanyizibwawo ddala. Oluvannyuma olw'emyaka ebiri nga akakiiko kano kakola obutassa mukka, k'awaayo alipoota yaako eri palamenti ya Bungereza ng'omutwe gwayo gwaali gugamba bwe guti:
THE ARRIVAL OF BRITISH EMPIRE IN INDIA
(OKUTUUKA KW'OBWAKABAKA BWA BUNGEREZA MU
BUYINDI)
Mu alipoota yaabwe eyo mwe batebelereza nti amagezi g'abasiraamu gamala gagobelera mukulembeze mu ngeri ya kizibu kya’amaaso.Era kye baava bawa amagezi nti wanonyezebweyo omuntu bbo gwe baayita omutuufu ng'ayinza okweyita Nabbi era ng'asobola okutuukiriza ekyo kye baatebereza. Mirza Ghulam Ahmad ye yalondebwa okukola omulimu ogwo olw'ensonga nti bajajjaabe baalina olujegere olw'amanyi olwabayunganga n'Abangereza, Era baatunulira embeeraaze ez'obutamanya Ddiini. Wabula nga munyikivu ku ddiini eyo bwe batyo ne bamulabamu embeera z'omuntu gwe baali banonyeza ddala era eyali asobola okutuukiriza ebyo byonna bye baali bagala ate nga yali mwetegefu okubayamba mu byonna.
Nga wayiseewo emyaaka, Mirza yawandiika ebbaluwa
nagiwereza Gavana Jenero ow'essaza lye Punjab nga akakasa ekyo kye yali
eri Abangereza, era yabagamba nti ye, Y'ENDOKWA EYEEMEZA YOKKA EY’OBUFUZI
BWA BUNGEREZA. Ebaluwa eno kitundu mu kitabo Mirza kye yawandiika
ekiyitibwa Kitab-ul Bariyyah, Rooham Khazain Vol 13 P 350.
obujulizi obwo obuli mu kitabo ekyo
bweyolefu eri oyo yenna
ayagala okumanya amazima. Bwe batyo kye baava ba mupangawo atandike
ng'omuwereza w'obusiraamu n'oluvannyuma yefuule nga ye w'okubuzza obupya era
bw’atyo agendelere nga yefuulafuula ng'eno bwayingira emitendera egy’enjawulo
mbu nga gyonna Katonda amala kutuma
bubaka gy'ali- Mirza.
Embeera nga zino ez'obutabufu bw'omutwe ze zamuwaliriza
okugenda mu maaso awataali kutya na kusonyiwala ne yepaatiikako emitendera egyo egy'enjawulo. Yatandikira ku kweyita omuwereza
w'obusiraamu era omuwereza wa
mutume, wuuyo mbu ye Mujadid ow'omulembe guno era mbu yeyatumwa okujja okuzza obupya eddiini y’obusiraamu
n'okubulung’amya mbu, mu kkubo
eggolokofu. Teyakoma awo wuuyo alanze atandise okweyita Muhaddith
mbu afanana Isa ibn Maryam ate oluvanyuma ne yeyita Maryam. Bwe
yamala ate ne yeyita nti ye Isa ibn Maryam (Masiih
eyalaganyisibwa) oluvannyuma olw'okweyita ebyo waggulu yatandika okukola
‘akotogo n'omugoyo’ n’alyooka yeyita Imam Mahdi- Nnabbi, omutume, Adam,
Seth, Nuhu, Ibrahim, Isa'ak, Ismaelah, Yusufu, Daudah, Sulaimani, Lord Krishan,
Jai Singh Bahadur nkugambye!! Tewali kigingi kyali kisobola kumuziyiza
kweyita buli ekyamujjiranga mu bwongo!! Oluvannyuma katweewungu ono yeyongeza ebitiibwa ebilara by'ataali
wuuyo okutuusa lwe yeyita nti ye NNABBI MUHAMMAD eyali akomyeewo
omulundi ogw'okubiri, kyeyava awandiika mu kitabo kye ekiyitibwa Roohani
Khazain bwati;
Oyo yenna ateekawo enjawulo wakati wange ne Mustafah, abeera tandabangako wadde okunetegereza.
[Bikoppeddwa mu kitabo ekyaba Kadiyani ekiyitibwa Roohani Khazain omuzingo 16 P. 259]
Mirza Ghulam Ahamd ye yatandiikawo ekibiina ekiyitibwa Ahamadiyya Muslim Mission nga kati bukya kitandiikibwawo gisoba mu myaaka ekikumi (100+years) era ekibiina kino kyeliisa nnyo enkuuli ne kiyita nakuli, [ng'omufu awunya], mu biseera Abangereza we bafugira Buyindi era na bulikati kilabilirwa awamu n'okuvujjilirwa omusimbi omungi okuva mu Bungereza. Era oluselegendde olw'abo abakilabilira munsaangi zino lweyongedde okuwanvuwa ng'abamu kubo abalulimu beebo abalina okutya nti singa obusiraamu buneyongera okusomesebwa, ne bugaziwa awamu n'okukulakulana ebigendelerwa byaabwe bituuse okufumwa obufumwa. Wabula abalabe b'obusiraamu abo bakimanyi bulungi nti singa omuntu yenna ayingira obu Ahamadiyya abeera si musiraamu.
Ba Masheikh abakulu abamanyi b’obusiraamu mu nsi
yonna begattira wamu mu lukungaana olw'abamanyi olwatuula mu 1974 mu kibuga
ekikulu Makkah-al-Mukharramah nga lwetabwaamu abamanyi abaava mu mawanga
g'obusiraamu 124, mu lukiiko lwabwe oluyitibwa Rabita al- A'lam al Islami, nti
MIRZA GHULAM AHMAD YAVA DDA mu BUSIRAAMU (Murtad) ERA
MUKAFIIRI ERA N'ABO ABAGOBEREZIBE KA BABE NGA BEYITA BA KADIYANI OBA BA AHMADIYYA
OBA BA LAHORI ABO
BONNA SSI BASIRAAMU .
Aba Ahamadiyya munsangi zino bagenda balimbalimba bambi abasiraamu naddala abo abataafuna mukisa kusomesebwa ddiini yaabwe ey'obusiraamu era ne bakozesa n'embeera y'obwaavu obuyitiridde obuli mu basiraamu mu byaalo nga babawa obuyambi gamba nga obw’okubasomeseza abaana ku bwelere okuzimba amalwaaliro n'ebilara ng'ebyo bibasobozese okubasendasenda era n'ebitabo byabwe; ng'ojjeeko ebyo bye bakweeka, nga Haqeeqat-al wahayi, Khutbah-e- Ilhamjah, Kalimatul Fasl, EK Ghalti ka izala, Brahiin-e-Ahmadiyya Roohani Khazain n'ebilala naye byonna ebisigaddeyo, naddala bye bagaba munsangi zino byo bisiigabusiizi mukama waabwe Mirza Ghulam Ahmad muzigo na kulaga nsi nga bwe yali omuntu eyakolelera ennyo obusiraamu n'okubwaagala. Naye bewalira dda okubaako kye bawandiika ku bigaambo ebyayogerwa mukama waabwe Mirza Ghulam Ahmad nga bisangibwa mu bitabo ebyo ebyogeddwako waggulu n'ebilara bingi nga bwe tunagenda tubibabyooleka.
Emabegako, mu myaaka mitono egyakayita waliwo
obupapula obwaali busaasaanyizibwa mu nsi yonna nga abekibiina ky'aba Ahamadiyya
be baali babugaba ku bwelere. Bwaliko
omutwe ogugamba nti Ahmad
in praise of Muhammad (amakulu: Ahmad nga bwe yatendereza Muhammad)
Ku lw’abo abatamanyi bya buwangwa bya nsi ezo azetolodde Buyindi, katubayambeko okubannyonnyola ebikwata ku mannya nga Ghulam Ahmad, Ghulam Rasuul oba amannya nga Ali aba Abdul Rahman n'amalala ng'ago. Amannya ago gaba mannya magatte era gegano: Ghulam (muddu) Ahmad (owa Ahmad); ng'era ne Ghulam Rasool bwe kitegeeza omuddu wa Rasuul, Ghulam Ali kitegeeza Omuddu wa Ali oba omuwereza wa Ali ne Abdul Rahman nakyo bwekityo bwekiri.
Kale kiwaawaaza amatu okuwulira omuntu eyeeyitanga Ghulam
Ahmad Omuddu wa Ahmad ate
ne yeefuula era ne yeyita nti kati ye Ahmad!
Ddala kisoboka omuddu okwenkanankana ne mukamaawe!? Akatabo ako (Ahmad in praise of Muhammad) kaawandiikibwa Mirza Ghulam Ahmad Kadiyani ng'ono ye mutandiisi w'ekibiina eky'aba AHMADIYYA MUSLIM MISSION. Era kaagezako nnyo okumetta ebizigo omukulembeze waabwe nga bwe kawa ebifananyi ebilaga nga Mirza bwe yali ayagala ennyo Nabbi Muhammad (S.A.W.), eyatanderezanga ennyo Allah , Qur'aan n'obusiraamu, wabula abasinga kye batamanyi ge mazima nti obulamu n’obuwangaazi bwa Mirza bw’ayawulwamu emiteeko esatu. Era gye gino:
1. Omuteeko ogusooka ky'ekiseera nga tanaba kuva mu Busiraamu. Ekyo nno ekiseera kiviila ddala mu buto okutuusa mu myaaka egy'obukulu. Olw'okuba Mirza yazalibwa mu maka amasiraamu ama Sunni, yali omusiraamu omujjumbize era mu kiseera kino mwe yawandiikira ebitabo ebyaali bimwogerako ng’omusiraamu eyali ayagala ennyo Nnabbi Muhammad (S.A.W.) era ng'eyali omunyweevu gguluggulu ku ddiini owa Ahli Sunnah wal Jama'ah era eyali yettanira ennyo okuwelereza obusiraamu. Mirza tewaliwo ssomero lisomesa Ddiini (madarassah) lye yali asomeddemu, wabula yasomerasorako awaka, era teyatuulako mu maaso ga Shaikh. n'omu n'amusomesa Tariqah. (ebyaafaayo ) Bw'atyo bambi natafuna mukisa kulambikibwa na kukumwakumwa mu by’okulyoowa emyooyo nga bwe yali enkola mu biseera ebyo. Wabula ye musajja wattu yeyambayambanga yekka ku buli kitabo kye yagwikirizanga nga ye bambi asoma busomi ssi nsonga oba bayali biwandiikiddwa balabe ba Busiraamu oba nedda. Bw’atyo n’atafuna kulung’amizibwa kutuufu era buli ekyamujjiranga mu bwongoobwe ye kye yasalangawo awataali na kufumintirizanga. Ekyo nno ky'ekiseera we yatandiikira okuwasa naye, nga kyali kizibu okumutegeera kiki kye yali.
2. Ggwo omuteeko ogw'okubiri ogw'obuwangaazi bwa Mirza kye kyaali ekiseera we yatandiikira okwolesa obunnanfuusibwe era n'atandika okwegaana ebyo bye yali asoose okwogera n'okuwandiika. Nga wayiseewo ekiseera bw’atyo yeyoongera okujeema n'okufuuka kiwagi era bw’atyo yagenda mu maaso okwogera wamu n'okufulumya ebiwandiiko ebivvoola , okukyankalanya wamu n’okufutyanka obusiraamu. Kino nno ky'ekifananyi eky'embeera Mirza Ghulam Ahmad gye yali atuuseemu era ab'ekibiina ekya Ahmadiyya Muslim Mission kye batayagalira ddala kwoolesa eri abantu. Era balafuubana nnyo okulaba nti tewali kiwandiiko kyonna mu biwandiiko bya Mirza eby'ekiseera ekyo ebyali bifulumiziddwa ne bilagibwa abantu okujjako bino ffe bye tutandiise okuvvunula nga tubigya mu Lurimi olu Urdu ebimaze ebanga ng'ekibiina ky'aba Ahamadiyya kibikusise.
3.Omuteeko ogw'abuwangaazibwe agw'okusatu gwegwo ogukwaata ku mbeera z’obulamu bwe era Mirza Ghulam Ahmad we yawandiikira nakkiriza nti yali mulwadde olukunkumuli lw'endwadde nge’ezimu zatuuka n'okumunafuya ate oluusi n'okumutabula obwongo!
Mu zimu ku ndwadde Mirza ze yalwaala mwe muli zino:-
Melancholia (Manial Depressive Psychosis)
(
) Mirraq (Hypochondriasis) (
) Amnesia
(
) Forgetfulness( ) Insomnia
(
) Hysterical fits ( ) Nervous Breakdown
( obulwadde b'wokuko) Dizziness (Kamunguluze) Diabetes Mellitus ( obulwadde bwa
Sukaali) Excessive urination of up to 100 times per day
(okukunkumula omusulo emilundi egisoba mu kikumi buli lunaku) yemulugunyanga entakera nti
yagwebwangamu nnyo amaanyi g'ekisajja era nga tasobolera ddala nakugezaako
"Kukiika mbuga ‘yadde okukombyaako". Emirundi mingi yanyumyanga
amalagala ag'enjawulo ge yakozesanga
oba okulagira abalala ne bagamutabulira. Mu gamu ku malagala ag'amaanyi
ge yakozesaanga mwe muli gano: Tonic
wine (lino lyongeza amaanyi mu muntu) ne Opium (nga kyo kino kika
kya njaga) era yateranga okunyumya ng'agamba abantu mbu Malaika yeyamuyigirizanga
mu birooto butya bw'anatabulanga eddagalarye ely'okumuyamba okufuna amaanyi
g'ekisajja. Yagamba mbu olunaku lumu Katonda yamulagira mu kirooto atabule
eddagala limuyambe okufuna amaanyi g'ekisajja kyokka opium (enjaga)
teyabulamu era yeyasing’angamu obungi.
Abaffe
katweebuuze:- Ddala Mirza yalina okwagala okusukkiridde eri Nnabbi
(S.A.W.) Era ddala oyo naye mbu yali Nnabbi nga ye bwe
yeyitanga? Abaffe ddala Mirza yali afuna obubaka okuva ewa Katonda?
Nandiiki, ebikolwaabye byaali bikolwa bya mutabufu bwa mutwe olw'okukozesanga enjaga ne waragi?
Mu mpapula
ezinadilira ng’enda okwongera okwoleka ebimu ku bigambo ebyakoppwa okuva mu
bitabo ebiwelako nga byawandiikibwa MIRZA GHULAM AHMAD, kilyooke
kisigalire eri mmwe abasomi baffe okwesalirawo ku kiki ddala omusajja ono kye
yali. Era omu kummwe kimufukire eky'obuvunanyizibwa okwesalirawo oba ddala
obyawandiikibwa eby'omutandisi w'ekibiina ky’abwe bwaali butamanyabwe oba ddala
ekibiina eky'aba Ahmadiyya kigendelera bugenderezi okubikkilira
n'okukusika obulimba buno obw'atekebwatekebwa obulungi.
EBYA MIRZA
GHULAM NE KATONDAWE
Nga bakozesa
ebiwandiiko by’abwe ebya pokopoko, aba Ahmadiyya bewaana ng'omutandisi
w'ekibiina ky’abwe bwe yali ayagala ennyo era n'okutendereza Allah,
wabula, bw'osoma ebitabo eby'awandiikibwa Mirza Ghulam Ahmad era
ye byagamba mbu bwaali bubaka (WAHYI) era mbu yafunanga n'okubikkulirwa
(REVELATIONS and INSPIRATIONS) ojja kukisanga nti byonna bye
yagamba mbu bwaali butume na bubaka byaali bimulambika bimuzza mu kkubo elyaali e ddala. sso ssi kkubo eggolokofu.
Mirza atugamba bw’ati mu bimu ku bitabo bye:-
"Olunaku
kumu nze nalabira ddala mu kilooto nga nfananira ddala Katonda era
bwentyo ne nzikkiliriza ddala nti obwa Katonda bunyingidde mu misuwa
mwonna era mu mbeera afanana bw’eti mwe nayogelera nti twetaaga eggulu
eppya wamu n'ensi empya. Era bwe ntyo ne ntonda eggulu
n'ensi.
(Bino byakoppeddwa okuva mu kitabo ekyaba Kadiyani
ekiyitibwa Roohani Khazain omuzingo 13 page 103).
Ate yye ow'omukwano ng'ali nnyo ku lusegere ne Mirza ng'ayitibwa Qazi
Yar Mohammed Kadiyani, mu kataboke akayitibwa Islam Quarbani,
atunyumiza bino:-
"Olunaku
lumu Hazrat Maseeh Mowood (Mirza) yatubulira embeera eyamutuukako
ng'afuna obubaka. Embeera gye yalimu yali ng'eyo ey'omukyala era Katonda n'alyoka ayolesa amaanyi
g'ekisajja eri Mirza. Ne bwe songerako ekyo kimala bumazi eri
abo abasobola okutegeera".
(Bino
byakoppeddwa okuva mukitabo eky’aba Kadiyani ekiyitibwa : Tract No. 34,
Islam Quarban P. 12 nga kyawandiikibwa Yar Mohammed
Qadiani, ow'omukwano nfaanfe owa Mirza Ghulam)
(Subhaana-
Allah! Mulabe Katonda banange nga bwe bamutaddeko ogw'okulya ebisiyaga!
Nsaba Allah atukingirize endowooza n'enzikkiriza ez'ekigwenyufu
ng'ezo).
OBUBAKA MBU
KATONDA BWE YAWA MIRZA
Mu kitabokye ekiyitibwa Haqeeqat-ul
wahyi, Mirza atugamba mbu Katonda yamugamba bwati:
"Owange
ggwe Mirza! Eggulu n'ensi nga bwe biri nange, na byo bwe biri ku
ggwe. Gwe wava munze ng'obw’omu bwange era ng'obwa Nnamunigina bwange.
Ggwe wava munze nga Namulondo yange bwe y’anvaamu. Ggwe wava munze
nga mutabani wange…. Nze nkola ensobi era mungeri y'emu ntuukiriza…Nze
nsiiba era mungeri y'emu nze ne nsiiburukuka…Ffe tukuwerezza
amawulire gano amalungi: ogenda okuzaala omwana omulenzi agenda okubeera nga
wamazima (HAQ) era ow'ekitiibwa (the MAJESTY) nga tewali njawulo
ne KATONDA ng'asse okuva mu Ggulu. Ffe amawulire ge tukuwa ga mwana mulenzi".
(Bino
bikoppeddwa okuva mu kitabo
eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Haqiiqat-ul; Wahyi, Roohani Khazain,
omuzingo 22 olupapula 79-99).
MIRZA GHULAM
AHMAD BYE YAYOGERA KU NNABBI MUHAMMAD S.A.W
Ebitabo bingi ebya pokopoko ebisaasaanyizibwa aba Ahmadiyya
era bijjudde ebigambo ebimatiza
omuntu nga bikkatiriza nga Mirza bwe yalina okwagala okuyitirivu eri Nnabbi
Muhammad (S.A.W) Wabula bw'ofuna omukisa n'osoma ku bitabo Mirza
bye yawandiika, mangu nnyo
okizuura ng'ekifaananyi kya Mirza kyawufu nnyo okuva ku ekyo ekibiina
ky’aba Ahmadiyya kye batuwa.
Bino wamanga
byakoppwa okuviira ddala mu bitabobye byennyini era bitulagira ddala ekifananyi
ekyewunyisa ate nga kyawukanira ddala
n'ekyo ekibiina ky'aba Ahamadiyya kye kituwa. Mu bimu
ku bintu ebisinga okusamaliriza kwe kubeera nti Mirza yakyuukyuusanga
ebyo bye yeyitanga. Yasoka kweyita OMUWEREZA WA AHMAD (MUHAMAD)
oluvannyuma omukwano gwe yalina eri Nnabbi mbu
gw’amubugaana.Wuuyo atabuse ate kati yeyise Muhammad (S.A.A.W)
Naye abagobelezi be (abakadiyani,
oba bayite aba Ahmadiyya, oba aba Lahori, oba kale bayite
aba Mirzayi) ebyo byonna oba babimanyi!? Bwe babeera nga
babimanyi lw’aki Ddala kale babikkilira n'okukusika ebigambo ebivundu ate nga
bya kigwenyufu ebifanana ng’ebyo?
MIRZA
YAGAMBA MBU YE MUWEREZA ERA OMUKWANO GWE NE NNABI (S.A.A.W ) ‘GUBASAZA MU KABU’
Nga bwe
by’awandiikibwa mu katabo ak'aba Ahmadiyya akayitibawa akhbar
Alhakm Qadian, omuko ogwa 23,Mirza yasooka kweyita mbu ye Ghulam(omuddu)
owa AHMAD (S.A.A.W) yagamba bw’ati : "omwetoowaze
wabwe ono ssi NABBI ne wankubadde OMUBAKA,wabula
ye MUWEREZA WA NABBI OWA WANSI ENNYO era OMUGOBEREZI WE…"
(Bino
bikoppeddwa okuva mu katabo ak'aba Kadiyani akayitibwa: statement
of Mirza Ghulam Ahmad, Akhbar Alhakm Qadiam No.23 vol.5)
Teyakoma awo
wabula yeyoongera okugamba abagoberezibe bwati:
"Oluvanyuma
lwa Katonda, tewali mulala gwenjagala nga Muhammad. Bwe kibeera nga kino
kigambo kya buttakkiriza, mbalayilira oyo ey’antonda nti buno bubeera butakkiriza obw'ekika ekya waggulu".
(Bino bi kkoppeddwa okuva mu katabo
ek'aba Kadiyani akayitibwa:
sayings of Mirza in pamphlet "Ahmed in praise of Muhammad P.1).
Bwe yamala okumatiza abagoberezi be nga bwe yali mbu ayagala ennyo Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) ate yataama butaami: anti yabagamba nti ate okwagala kwe yalina kwayita nawo kuukwo ku musitudde okutuusa lwe kwamufuula Muhammad. Mirza yagamba bwati:-
"Era Allah yassa kunze ekyengera eky'obwa Nnabbi
owekitiibwa era n'akijjuza era n'ampa ekisa n'okwagala ng'okwo Nnabbi
ow’ekisa oyo yenna eyegatta ku kibiina kyange (eky'aba kadiyani) abeera
ng'afuuse omu ku ba swahaaba ba mukama wange- oyo asinga ba Nnabbi
bonna. Kino kyeyolefu eri abo abalina obusobozi obw'okufumintiriza ku bigambo
bino [n'abalala mu bo] kye bitegeeza. Omuntu oyo yenna ayawula wakati
wange ne Mustafa (ntegeeza Nnabbi (S.A.W.) abeera nga tannantegeera
yadde okundabako.
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani vol. 16 pp. 258-259)
w'ayitawo akaseera mpa we kaaga, olwo Mirza n'atabuka wuuyo atandise okweyita Nnabbi S.A.W. bw'atyo eyali GHULAM (Omuddu) kati ate YAFUUKA OMUKULU.
MIRZA
GHULAM ATANDIKA
OKWEYITA MUHAMMAD S.A.W
Mirza yagamba bwati:
"Muhammad-ur-Rasuulullah wal-ladhiina ma'ahu alal kuffar
ruhamaa'u
bainahum"
mu bubaka buno Katonda y'antuuma Muhammad era mu negri yeemu n'antuuma omubaka
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky'aba Kadiyani ekiyitibwa; Roohani Khazain vol. 18p. 207).
Mirza Ghulam y'eyongera okugamba bwati:
"Ow'ekitiibwa Nnabbi yajja mu ngeri
biri-oba ka ng'ambe nti mu lujja luno olw'okubiri olwa Burrozi, okwo kwe
kudda okwa Nnabbi okwasubizibwa era kw'atuukirizibwa, bwe yajja oyo masiih era mahdi
eyasuubizibwa".
Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 17p. 249).
Era yagamba bwati:
"Nze (Mirza Ghulam Ahmad)
nkiding'anye emirundi mingi nti okusinzira ku aya eya Qur'an "Wa
akhareena minhum iamma yalhaqoo behim" Ye nze Buroozi era emabegako mu
myaka 20 egiyiseewo, Katonda y'antuuma MUHAMMAD era AHMAD mu
kitabo kye ekiyitibwa Braheen-e-Ahmadiyya era n'alangilira nti nze
Katonda
(Bino
by'wandikibwa mu kitabo eky'aba Kadiyani kiyitibwa Aik-ghalti
ka azala, Roohaan Khazain vol. 18 p. 212.
Mirza teyakoma awao! Yeeyongera n'agamba bwati:
"Nnabbi (S.A.W.) yazalibwa emirundi ebiri: nga Nnabbi ate mu ngeri endala ky'asuubizibwa nti Nnabbi (S.A.W) agenda kuzalibwa omulundi ogw'okubiri era kino ky'atukirizibwa bwe yafuusibwa era n'azalibwa nga yye ye masiih era mahdi eyasuubizibwa."
(Bino bikoppeddwa okuva okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Tohfa-e-Golravia, Roohani Khazain vol. 17 p. 249).
Era Mirza bw'atyo ne mu kitabokye ekiyitibwa
EK Ghalti ka izala, Roohani Khazain vol. 18 page 212 yagamba
bwati:
"Bwe mbeera nga nze eyafuusibwa Nnabbi era
bwe bibeera nga eby'atuukirizibwa ebya Muhammad nabyo bitwalirwaamu
n'obw'obu Nnabbi nga bwe byeeyolekera mu kifananyi ky'ekisikirize
kyange, kale ate ani oyo eyeepaatiseeko obwa Nnabbi omulala?".
Bwe bityo ebiwandiiko n'enzikkiriza ng'ebyo eby'awandiikibwa Mirza Ghulam Ahmad bye by'awaliriza abagoberezibe okwolesa mu lwaatu enzikkiriza y’abwe awatali kwemotyamotya era ekyo kyabawaliriza okugamba bweebati:-
"Ddala kituufu Mirza Basheer Ahmad (
ng’ ono ye mutabani wa Mirza Ghulam) yagamba bwati:-
"Masih Mowood ssi wanjawulo ne Nnabbi
(S.A.W), wabula bafananira ddala era yye , y’akomyeewo mu nsi muno ng'ali
mu kifananyi kya Buroozi…. N'olwensonga eyo mmwe mulaba waliwo
okubuusabuusa kwonna nti Katonda nate tatusidikidde Nnabbi mulala eno
ewaffe mu Kadiyani?"
(Bino By'awandiikibwa mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Kalimat Alfasl pp. 104-105, Review of Religions Qadian March 1915)
Mirza yeeyoongera okutabuka, n'agamba bwati:-
"Kakati Kino kyelaga kyokka nti bwe kibeera nga
okuwakanya okukkiliza mu Nnabbi ow'ekitiibwa nga kigambo kya BUKAAFIRI, olw'ensonga
nti oyo Masiih eyasuubizibwa si wanjawulo ne Nnabbi wabula nga be bamu era bw'abeera ng'oyo agaana okukkiliriza mu Masiih
eyasuubizibwa ssi MUKAAFIRI kibeera bwe kityo nti n'oyo aba awakanyizza Nnabbi
tabeera MUKAAFIRI.)
(Bino bikopppedwa okuva mu kitabo ky'aba Kadiyani
ekiyitibwa:Kalimat Alfasl.pp.146-147.Review of religion,Qadian,march-April1915)
Era yagamba nti:
‘Waliyo okubuusabuusa nti katonda teyasindika nate Muhammad (S.A.W) e kadiyani asobole okutuukiriza ekisuubizo kino?"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky'aba kadiyani
ekiyitibwa:Kalimat al Fasl ekya Mirza Basheer Ahmad. Review
of religions p.p.105 No 3 omuzingo 14).
MIRZA AGAMBA MBU YE NE NNABBI MUHAMMAD (S.A.W) BENKANANKANA.
Mirza yakozesa nnyo akakodyo k'okwefanaanyiriza Nnabbi. Era kyeyava agamba nti:-
"Oyo yenna ateekawo enjyawulo wakati wange ne MUSTAFA
(S.A.W.), abeera tandabangako yadde okunnetegereza".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Roohani Khazain, omuzingo 16 p. 171).
Ate lwo olupapula olw'amawulire olutongole olwoogelera aba Ahmadiyya oluyitibwa Al-Fazl lw'awandiika bwe luti:-
"Ekifananyi ky'oyo Masiih eyalaganyisibwa (Mirza)
mu maaso ga Allah, tekirina njawulo n'ekya Nnabbi (S.A.W) oba ka
tugambe nti mu biwandiiko ebiri ewa Allah, tewaliyo ndabika ndala oba
enjawulo wakati w'oyo eyalaganyisibwa ne Nnabbi Muhammad (S.A.W)
wabula, bombi balina ekitiibwa ekyenkanankana era n'eddaala ly'abwe bali ku limu; ekifo wamu n‘elinnya ly'abwe byombi
by'ebimu. Ne wankubadde nga mu bigamba byaabwe tebafanana, naye ate mu mibiri
baali omuntu omu era be bamu.
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa Al-Fazl, Qadiani, vol. No. 37 era ne kiwandiikibwa ne mu lupapula lwaabwe olw'amawulire oluyitibwa Qadiani Mazhah ku p. 207, 9th Edition, olwaafulumira mu kibuga Lahore- Pakistan nga 16th September, 1915).
Ebiwandiiko ebifanana ng'ebyo bye tulabye waggulu bye bimu ku ebyo eby'aletera abagobelezi b'omusajja eyatandikawo ekibiina kyaba AHMADIYYA MUSLIM MISSION okufuna era n’okuteekawo enzikkiriza yaabwe bwe b’agamba bwe bati:
"Masiih
eyalaganyisibwa bw’amala okujja enjawukana emu ye yafunibwa (ng'ekwata ku
makulu ga Kalimat shahaadah) era ekitegeezebwa kiri nti nga Masiih eyalaganyisibwa
tannatuuka, ba Nnabbi bokka ab'emirembe egyayita bebateekebwa mu
makulu g'ekigambo kino: "Muhammadur Rassulullah"
NAYE, Masiih
eyalaganyisibwa bw'amala okutuuka, NE KWONGERWAKO KU MAKULU G'EKIGOMBO MU
HAMMADUR RASSULULLAH EKIGAMBO "NNABBI OMULALA OMU….ne
kibeera nti omuntu yenna okusilamuka, Shahaadah eyo y'emu gy'alina
okwogera, ng'enjawulo yokka eliwo kwe kwongerwako okwa Nnabbi omulala (Mirza
Ghulam) ku makulu g'ekigambo ekyo oluvannyuma lw’okutuuka kwa masiih
eyalaganyisibwa…tetwetaaga Shahaadah ndala yonna, olw'ensonga nti Masiih
eyalaganyisibwa si wanjawulo ku Nnabbi ow'ekitiibwa (S.A.W),
era nga bwe yagamba "Saara wajoodi wujoodahoo
(omubiri gwange gw'afuuka ogugwe) era oyo yenna atwawulayawula: nze
ne Mustafa abeera tampadde kitiibwa yadde okung’ulumiza ….kale oyo Masiih
eyalaganyisibwa ye Muhammad Rassullullah yenyini akomyewo nate mu
nsi muno asasaanye obuyisiraamu, n'olwekyo ffe tetwetaga Shahaadah ndala
yonna. Yyee! Ekyo bwe kiri
ssinga waali kubeerayo muntu mulala nga yatujjidde,
twandiibadde (shahaadah endala) tugyetaaga…kale mwenna mufumintirize!!.
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa Kalimat-ul Fasil ku page 158 ekya Mirza Basheer Ahmad (mutabani wa Mirza Ghulam)
"Oluvannyuma lw'okuzaalibwa kwa Masiih eyalaganyisibwa (Mirza omukadiyani) w'abalukawo enjawukana (Ng'ekwata ku makulu ga Shahaadah). Nga Masiih eyalanganyisibwa (Mirza omukadiyani) tannazalibwa mu nsi, nga Nnabbi, ebigambo "Muhammadur Rassuulullah" byaali bigatta amakulu gaabyo n’abo ab'amusooka; naye oluvannyuma lw'okufuusibwa kwa Masiih eyalaganyisibwa (Mirza Omukadiyani) muno mu nsi nga Nnabbi, ekyo ky’aletera amakulu g'ekigambo Muhammadur Rassuulullah okwongerwaamu Nnabbi omulala omu. N'olweekyo, olw'okufuusibwa kwa Masiih eyalaganyisibwa, Shahaadah, tegobebwa; wabula yeyongera kumasamasa nnyo. Mu binpimpi,shahaada eyo esigala nga y’amanyi n’eri Omuntu oyo ayingira obusiraamu. Enjawulo yokka eriwo y'eyo ey'okwongerwaamu Nnabbi OMU mu makulu g'ekigambo Muhammadur Rassuulullah oluvannyuma lw'okufuusibwa kwa Masih eyalaganyisbwa (Mirza omukadiyani)"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani eky’awandiikwa mutabani wa Mirza Ghulam ayitibwa Mirza Bashir Ahmad ekiyitibwa Kalimat-ul-Fasl ku page 158.
"Ka nyongereko ne kino: ne bwe twandikkirizza, nga tutebereza ekyo
ekitasoboka, nti erinnya lya Nnabbi ow'ekitiibwa (S.A.W)
ly’ayongerwa ku Shahaada olw'ensonga nti yye ye
w'enkomelero mu ba Nnabbi; era ekyo tetukisangamu kabi era tuba
tetwetaaga Shahaadah ndala olw’ensonga nti Masiih eyalaganyisibwa
y'omu ne Nnabbi ow'ekitiibwa ng'era ye (Mirza) yennyini
bw'agamba: " Nga bw'olaba nze
bwendi tewali njawulo ne Muhammadur Rassuulullah".
Era "Oyo yenna atwawulamu wakati
wange ne Mustafa abeera t’ampadde
kitiibwa yadde okung'ulumiza" Era eky'ava mu kigambo kino kwe kubeera nti ow'ekitiibwa Allah
yasuubiza nti agenda kunfuusa mbeere ‘KHATAM UN NABIEEN’
muno munsi omulundi omulala nga Nnabbi
ng'obukakafu tubufuna mu kigambo ‘ N'abalala mubo…’Bwe kityo ne kiba
nti masiih yalaganyisibwa (Mirza
omu Kadiyani) muye mulimu ne Muhammadur Rassuulullah , oyo Masiih
eyafuusibwa mu nsi muno nate asassaanye obusiraamu. Kale tekitwetagisa kubeera na Shahaadah mpya nate.
So ng’ate ssinga yali nga muntu mulala yeyafuusibwa n'atabeera Muhammadur
Rassuulullah, kyandyetagisizza Shahaadah endala. Kale mufumintirize.
(Bino nabyo by’akoppwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa Kalimatul Fasl, page 158)
ABA KADIYANI NGA BWE BASAALIRA NNABBI MUHAMMAD
(S.A.A.W)
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Risala Durood Shareef, eky'awandiikibwa Mohd Ismael Qadian p. 136)
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Risala Durood shareef ,Arb’een No2.Roohan Kazain Vol.17 p349)
MIRZA YABBA AYA EZA QUR'AAN N'AZEPATIIKAKO.
Omusajja ono eyelangilira nga bwe yali ayagala ennyo Nnabbi (S.A.A.W) yabbinkira nnyo mu kiwarazima ky'okwagala kw'omwooyogwe okutuusa lwe yatandika n'okugamba nti afunye obubaka obuva mbu ewa Allah nga bumugamba mbu aya zonna ezakka nga zitendereza Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) kati mbu zikyusiddwa zitendereza ye- Mirza Ghulam.
Ab'oluganda Abasiraamu, kati mubikkule ekitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa HAQEE QAT-UL WAHYI ku muzingo ogwa 22 ogw'ekkung’aaniro ly'ebitabo eliyitibwa Roohani Khazain, bw'onobeera ng'otandikidde okusoma okuva ku lupapula olwe 77 okutuuka ku olupapula olwe 111, ojja ku kizuula nti Mirza Ghulam yawandiikamu ezimu ku ayats ye z'agamba mbu zamwolesebwa era mbu nga nozo ziri mu lulimu luwarabu. Omuntu yenna amanyidde okusoma Qur'aan kyangu okukizuula amangu nti ebigambo eby’awandiikibwa mu kitabo kino ekya Mirza Ghulam by'akoppwa bukoppwa okuva mu Qur'aan bulambalamba. Yagendanga awaganyikamu ayats ezo ezigulumiza n'okusuuta Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) era n'ezimu ku ezo ayats ezakozesebwanga Hazrat Ibrahim (A.S.)
Kakati ka tubaweeyo eby’okulabirako ebitonotono ku zimu ezo ayats Mirza Ghulam ze yabba era n'azepaatiikako mbu zassibwa ku ye.
Tukimanyi bulingi nti Allah awaana Nnabbi Muhammad ( S.A.A.W) ne ba Swahaababe era n'abagulumiza mu Qur'aan nga bwe tunalaba mu ayats zino wamanga:
Ø Mu surat-ul Fatha 48:29
"Muhammadur Rassuulullah wal-ladhiina ma'ahuu, ashidda'u 'alal kuffaar ruhamaa'u bainahum" Amakulu:
okumalira ddala ebyaasa kumi na bina, Abasiraamu babimazeeko nga tebafunangayo makulu malala gonna nga gavvunula aya eyo emanyiddwa obulungi. Naye obubaka (WAHYI) OBWASSIBWA KU MIRZA BW'AMUGAMBA MBU BWEEBUTI:
"Muhammadur
Rasuulullah wal- ladhiina ma'ahuu, ashiddaa'u 'alal kuffaar ruhamaa'u
bainahum…' ‘mu bubaka buno Katonda yantuuma MUHAMMAD era mungeri y'emu
yantuuma OMUBAKA’.
(Bino Bikopeddwa okuva mu kitabo
eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain, omuzingo18
olupapula 207)
Mu ngeri y'emu Ka twongere okubawa ayats endala nga nazo Ssinga omuntu azisoma akiraba mangu nnyo nti nazo z'ali nga zisuuta n'okugulumiza Sydna Muhammad (S. A. W). Naye kyewunyisa ate mbu ayats zino mbu nazo ZASSIBWA KU MIRZA MBU NGA NAYE ERA ZIMUSUUTA N'OKUMUGULUMIZA. Mirza atugamba bw'ati:
Mu surat At-tauba 9:33
Ø ‘Huwa lladhii arsala rasuulahuu bil-huda...’
Ø Amakulu:
Yye ye yye eyatuma omubakawe n'obulung'amu
Mu surat
banni Israaiila 17:1
Ø "Subhaana lladhi asraa bi
'abdihii…"
Amakulu:
Mu surat Al-'Imraan 3:31
Ø Qul in Kuntum tuhibbuna llaha fattabi- unii…"
Amakulu:
Gamba nti bwe mubeera nga mwagala Allah
mungobelere
Mu surat Al-Fath 48: 1-2
Ø "Inna fatahnaa laka fat- ham- mubiinaa
Amakulu:
Ddala ffe twakugulirawo oluggulawo olweyolefu ….
Mu surat Yaasiin 36:1-3
Ø Yaa
siin wal Qur'aanil Hakiim. Innaka laminal
mur saliin ….."
Amakulu:
Yaaa siin ne Qur'aan ejjjudde amagezi. Ddala gwe oli wa mu babaka …..
Mu surat Al kausar 108:1
Ø
Innaaa
a'atwainaakal kawsar…"
Amakulu:
Ddala ffe tw'akuwa ebingi
…..
Mu surat Al-Ambiga 21:107
Ø " wamaa arsalnaaka illa rahmata
llil 'aalamiina"
Amakulu
Tetukutumanga
wabula ng'oli kya kusasiza eri ebibuumbe
Mirza teyakoma ku kya kwepaatiikako mirimu gya nnabbi
(S. A. W) wabula yatandika okweepaatikako n'ebitiibwa bye ebilara nga bino wamanga:-
1.
Abantu
b'enyumba ya mirza b'atandika okuyitibwa AHLI BAIT
2.
Mikwano gya Mirza
b'afuuka ba SWAHABA
3.
Mukyala wa Mirza
yafuuka UMM-UL M'OMINIIN
4.
N'omuzikiti
ogw'azimbibwa kitaawe gw'atandika okuyitibwa MASJID AQSWA
ogwe KADIYANI
Mirza agambaaa nti okumala emyaaka 1400, Abasiraamu
baali b'awubwa ebanga lye b'amala
nga balowooza nti ekibuga yerusalemu kibuga kitukuvu. Era okusinziira ku
Mirza Ghulam ye agamba nti omuzikiti ogwe AQSA
omutuufu Nnabbi (S. A. W) gwe yagendamu bwe yalinya mu Ggulu mu
kiro ekyo, amazima mbu go gali nti gwe ggwo oguli ku kyaalo kye Kadiyani.
Mirza ky'ava annyonnyola bw'ati:
Ø Aya mu Qua'aani eri mu surat
Banii Isaaiila 17:1 egamba nti: " Subhaana lladhii
asraa bi'abdihii lailam min-al Masjid-il Haram ilal Masjid Aqsa …
Amakulu:
Atukuzibwe
oyo eyatwala omudduwe mukiro okuva mu muzikiti ogw’emizizo okugenda ku
muzikitiogw'ewala.
Mirza Ghulam agamba nti ebigambo ebyo waggulu,
amakulu g'abyo n'enkozesa y'abyo ebituufu bili nti: omuzikiti ogw'azimbibwa
Taata wa Mirza era ogw'ayongerwako Mirza Kenyini gwe ggwo omutuufu
ogw'ogerwaako.
(Bino
Bikopeddwa okuva mu biwandiiko eby'aba kadiyani ebitibwa: Advertisment
for collection of donation for Minarat-ul Maseeh. Collection of
Advertisemnt vol. 3 page 286)
5.
Ekifo ekye KADIYAN
ky'afuuka ekifo eky'emizizo nga kati kiyitibwa ARDHI –E- HARAAM
era oyo yenna alamaga mu kifo kino abeera akoze HIJJA ENTONO:
Ø "Kati ekifo ekye kadiyyani kya
kitiibwa. Enkuyanja y'abantu abalamagayo ekifudde eky'omuzizo"
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo
ky'ebitontome eky'awandiikibwa Mirza
ekiyitibwa: Mirza Ghulam's poetry dur-e-sameen
p.56).
Ø
"Abantu
bagenda okulamaga mu Hijja ne Umura. Naye okulamaga mu kifo kino
(Jalsa Salana mu kadiyani) ofuna empeera empitirivu obungi
okusinga n’oyo akoze Umura era oyo yenna alagajjalira ekikolwa kino
abeera wa kabenje era ow'obulabe, olwensonga nti lino ekkubo (elyaba Ahmadiyya)
kkubo ly'ava wa Katonda era kiragiro kye".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani
ekiyitibwa Alna-e Kamalat-e Islam. Roohani Khazani
vol.5p.352)
Ø "Olw'ensonga nti abo bokka
abalina obusobozi, be balamaga mu Hijja, nga ne wankubadde obubaka
bw'asooka kusaasaanyizibwa mu baavu; abaavu bo b'asonyiyibwa obutakola Hijja.
Ekyaava mu kino Katonda kyeyava
atekawo ZUL-HAJJ endala kino kisobozese abantu abo Katonda ye b'ayagala
okukwaasa omulimu gw'okusitula obusiraamu era n'abo abasiraamu abaavu ab'omu
Buyindi kibasobozese
okujetabamu.
(Bino bikopeddwa okuva mu lupapula lw'amawulire
olw'aba Kadiyani oluyitibwa: Alfazl Vol. 20 No. 66 olwafuluma nga
1st Decmeber, 1932 nga yali khutuba ya khalifa w'aba kadiyani eyayitibwanga Mlan Mehmood
Ahmad)
6.
N'ekisembayo,
naye nga si kye ky'enkomelero, abasikira Mirza Ghulam Ahmed
b'atandika okuyitibwa "KHULAFA-E-RASHIDIIN".
OBUBAKA
(WAHYI) MBU OBWASSIBWA KU MIRZA GHULAM
Mu kiseera kino
Mirza yakalambira era n'atandika n'okwogera nga tewali na kwemotyamotya
n'alangilira nti atandise okussibwako obubaka okuva ewa Katonda. Bw’atyo kye
yava ayogera kaati bw’ati:
"Omusingi
kwe twesigamizza okw'ogera bino te gwesigamidde ku zi Hadiths, wabula
twesigamidde ku Qur'aan.Wabula tuzikozesa ezo zi Hadiths
ezikwatagana ne Qur'aan era nga TEZIKONTANA N'OBUBAKA OBWASSIBWA
KU NZE. Zo zi Hadiths ezisigadde NZIKASUKA ERI NG'EBISASSIRO"
(Bino
bikopeddwa mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain
vol. 19 page 140)
Ø
"Mu
kitabo Braheen-e-Ahmadiyya,
Katonda y'ampita ng'akozesa elinya erya Ibrahim".
(Bino bikopeddwa mu kitabo
eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Arba'een No. 3 Roohani
Khazain, vol. 17 page 420).
Ø
"Ensomesa
yange erimu amateeka, ebiziyizo n'okuzza obupya amateeka amakulu mu shari'at.
N'olwensonga eno, Katonda ensomesa yange n'obubaka byonna ebikka gyendi,
kyavudde abituuma "elyaato". Kyemuva mukilaba nti Katonda
kyavudde alangilira obubaka bwange, ensomesa yange n'okuwela kwe mpera mu
maaso ge, n'abigerageranya
n'elyaato elya Nuuwa ekyo kifuuke enunuzi oba eky'okununuzusa abantu bonna.
Abalina amaaso basobola okukilaba
n'abalina amatu basobola okuwulira".
(Bino pikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Arba'een,
vol. 4 foot note of page 6 ne Roohani Khazain vol. 1.p 435)
Ø "Kino nkyogera era nga bwe ndayira
n'erinya lya Katonda nti obubaka obwassibwa ku nze mbukkiririzamu ng’era bwe
nzikkiririza mu obwo obuli mu Qur'aan n'ebitabo ebilala ebya Katonda.
Era nga bwe siwakanya nti Qur'aan
kitabo kya Katonda, era bw'entyo bwe nzikkiriza nti obubaka obussibwa ku nze
bigambo bya Katonda ddala".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo ky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Haqeeqatul
wahi Roohani Khazain vol. 22. p. 220).
Ø "Obukkiriza bwe nina ku bubaka
obussibwa ku nze bwenkanira ddla n'obwo bwenina ku Qur'aan ne Tawleti".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Arba'een
No. 4 ne Roohani Khazain vol. 17 p. 454).
Ø "Era ekigambo kya Katonda kyassibwa
ku nze mu bungi era ssinga kikunng’anyizibwa tekisobola ku beera wansi wa
bitundu amakumi abiri (20 parts).
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Haqeeqatul
Wahi, Roohani Khazaini vol. 22 p. 407).
MIRZA
AGAMBA NTI Y'ASINGA NNABBI MUHAMMAD S.A.A.W (ma'az Allah):
Wabula mirza Ghulam Ahmad yali tannamatira. Bw’atyo yeeyongera okuwankirawankira okwongerako. Buli muntu yenna asobola okukiteeba: Kino kwali kweyongerako mu by’okulyoowa kw'emyoyo oba bwali butabufu bwa bwongo? Ekyaddilira kwe kutandika okwelangilira nga bw'asiinga Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) ekitiibwa n'okubeera owa wagulu. Kyeyava agamba bwati:
"Go amazima gasigala gakyali nti eby'emyooyo ebya Nnabbi
S.A.A.W (nga bino tubilabira Mirza Ghulam ) mu kino ekiseera
ekifundikira ekyaasa eky'omukaaga, bisingira ddala wala nnyo mu maanyi era
n'okubeera ebituufu ssinga obigelagalanya wamu n'egyo emyaka egy'asooka,
binanafa n'omwezi ogw’eggabogabo"
(Bino bikopeddwa kuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa khutba –e- iihamiah, Roohani khazain vol. 16 P. 271)
Ø "Nabbi waffe yatandika okufuna obubaka mu mwaka gw'enkumi ttano (5) (bwe yazalibwa e Makka) nga bwonna bujjuvu naye ekyo ekiseera tekyaali kutuuka ku ntikko y'okweyongera mu by'okukka kw'obubaka.Wabula,kyaali ntandikwa y’okujjuza obubaka. Oluvanyuma okweyongera kw'okussibwa kw'obubaka kw’ayolesebwa mu bujjuvu mu mwaaka ogw'akakaaga (guno gwe mwaaka gwe yaddamu okuzaalibwa mu kadiyani) nga kino kye kiseera kya kakano".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani
ekiyitibwa Mirza in Khutba-ilhamiya,Roohani Khazain,vol.16.p. 66).
Ø
Mirza oluvannyuma yagamba abagoberezibe nti yye yaweebwa
obubonero 300,000 wamu n'ebyamagero sso ng'ate yye Nnabbi (S.A.A.W)
yaweebwa 3,000 bwokka. Ng'eno bwe yewaanawana, yawandiika mu kitontomekye
bw’ati "Katonda yawa Nnabbi (S.A.A.W) eky'amagero kimu
kyokka kye ky'okusiikirizibwa kw'omweezi, naye ate nze naweebwa byombi- eky'okusiikirizibwa
kw'enjuba n'eky'omweezi. Kale munzikirize.
( Bino bikopeddwa okuva mu
kitabo eky’aba kadiyan iekiyitibwa:
Aijaz-e-Ahmadi,Roohani Khazain Vol
19p183)
Ø
Mirza
yeewaana nti, waliwo ebyaama ebikusike n'amakulu ga Qur'aan amakusike
nga byo tebyayolesebwa eri Nnabbi Muhammad (S.A.A.W), naye ate
nga Mirza by'amubulirwa. Ne kibeera nga bwe kiri bwe kityo nti Nnabbi
(S.A.A.W) teyategeera makulu ga bigambo nga Ibne Maryam,
Dajjal, endogoyi
(Bino bikopeddwa okuva mu
kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Izala-e-Auham, Roohani Khazain
vol. P. 473).
Ø
Era Mirza
yagamba nti "Obusiraamu (obwa Nnabbi (S.A.A.W) bw'atandika
nga bw'olaba omweezi ogw'embonekelera era ne buteekebwa teekebwa okufuuka
obujjuvu nga bw'olaba omweezi ogw’eggaboggabo. (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo
eky'aba kadiyani ekiyitibwa Roohani Khazain vol. 16. p. 184).
Ø Kino kyeraga kyokka nti Fath-e-Mubeen (obuwanguzi
obw'olwatu) bw'atukibwaako mu kiseera ekya Nnabbi waffe (S.A.A.W) wabula, obuwanguzi obulala
tebwaatukibwaako, ate nga bbwo bwe
businga okubeera obweyolefu
n'obukulu era bw'ateekebwa teekebwa butuukibweeko mu kiseera ekya Masiih
eyalaganyisibwa".
(Bino bikopeddwa okuva mu
kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa Roohani Khazain vol. 16 p.
288).
Ø
Omu ku
bagoberezi ba Mirza yatontoma ekitontome ng’ali mu maaso ga Mirza
Ghulam bwati:
"Ono gwe tulaba kati ye Muhammad akomyewo nate muffe
era ekitiibwa kye kati kiyitirivu okusinga bwe kyaai oluberyeberye. Oyo yenna
eyandyagadde okutunulira ku Muhammad ng’ali mu mbeeraaye ey'obwenkamu
nkamu asaanidde amaaso ge agolokeze Ghulam Ahmad wano we tuli mu kadiyani".
Kigambibwa nti Mirza bw'amala okuwulira ebigambo ebyo, yaddamu
bw’ati nti Jazakallah era oluvannyuma ekitontome ekyo
ky'awandiikibwa mu nnukukuta ezaawundibwa obulungi ennyo, ne kiwanikibwa mu
nnyumbaye.
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky’aba Ahmadiyya ekiyitibwa Qazi
Zahoor Ahmad akmal Qadiani,ekyakubibwa ne mu lupapula lw’amawulire
oluyitibwa paigham-us sulh nga 14th March,1916 mu
kyaalo kye kadiyani)
Ø
Okukula kw'obwongo n'amagezi ebya Masiih
eyalaganyisibwa (Mirza owe Kadiyani) byaali bya
waggulu nnyo ekisukkiridde okusiinga ku ebyo ebya Nnabbi (S.A.A.W) era
bino bye bintu byokka ebya
ssukkulumya Masiih eyalaganyisibwa ku Nnabbi (S.A.A.W) ku lw’ensonga nti obwongo bwa Nnabbi
(S.A.A.W ) bwaali tebusobola kukkako bubaka mu bujjuvu,
olw'obukendeevu n'okubeera emabega mu bye’nkulakulana yadde ng'obusobozi bbwo
bwaliwo. Wabula, mu nsangi zino,Obujjuvu bw'obubaka bweyolekedde mu Masiih eyalagayisibwa
olw'ensonga nti waliwo okugenda mu maaso mu by'enkulakulana
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Review of Religions, ekyafufuma nga May 1929, wansi w'omutwe :Qadian Mazhab p. 266. 9th Ed. Lahore.)
MIRZA YAGENDA WALA MU KUKAKKANYA WAMU N’OKUTYOOBOOLA NNABBI MUHAMMAD ( S.A.A.W)
q Nnabbi Muhammad S.A.A.W teyategeera makulu agaali mu suula eyitibwa AL-ZILZALAH
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo
eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 3 p.
166-167).
q Obubaka
bwa Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) nabwo oluvannyuma bw'afuuka obw'obulimba
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo
eky'aba Ahamadiyya
ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 3p. 474)
q Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) naye yakolanga ensobi bw'atategeeranga bubaka obwaabanga bumusseeko.
(bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Ahmadiyya ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 2 p. 224).
q Ekifo
aw’aziikibwa Nnabbi Muhammad (S.A.A.W) obusiraamu
bukimanyi nti kifo kya kitiibwa nnyo. Naye Mirza yakikakkanya
olukakkanya! (Nsaba Allah n'omubakawe b'ansonyiwe okuwandiika
ebigambo bya Mirza ebitayisika mu kamwa) yagamba bwati: "Era
Katonda naye yagenda okulaba ng'ekifo EKINYOOMOOFU BWE KITYO,
EKIWUNYA BWE CHUCHUCHU, EKIFUNDA BWE FUNDAFUNDA ate nga KYA NZIKIZA BWE ZIBIZIBI. EKIJUDDE EMPITAMBI
Y'EBIWUKA. Nga kyekisaanidde
okuziikibwamu Nnabbi (S.A.A.W)
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 17p. 205).
MIRZA YEYITA NNABBI OW'ENKOMELERO
Mirza bwe yatuuka ku ddaala ely'okweyita NNABBI OW'ENKOMELERO, kino kyaali tekyewuunyisa muntu yenna. Era yatandika okugamba bwati:
Nkiding’anye emirundi mingi nti okusiinziira
ku ayat eri mu Surat-Al-Jumu'a 62:3
egamba nti, "wa aakhareena minhum lamma yalhaqoo behim….
Amakulu: Era (alituma n'eri) abalala mu bo abatannabegattako … mu ngeri eya BUROOZI
(ekigambo kino kyavvunulwa aba kadiyani nga kitegeeza
ekifananyi oba okubbula) Ye nze
oyo Nnabbi KHATUM-UL-ANBIYA (Nnabbi ow'enkomelero) Era
emyaaka abiri egyayita Katonda y'antuuma MUHAMMAD era AHMAD mu
kitabo Braheen-e-Ahmadiyya era bw’atyo n'alangilira nti nze
kifananyi ekya Nnamaddala ekya Muhammad (S.A.A.W). Era bwe kityo ne kiba
nti obwa Nnabbi bwange tewali we bwawukanira mu kitiibwa olwensonga nti
(Mirza Ghulam) nze Nnabbi ow'enkomelero; kubanga
silabawo njawulo wakati w'ekisikirize n'ekyo mwekivudde anti nze kisikirize kya
Muhammad era nze kifananyikye.
Era bwe kityo bwe kiri nti okufundikirwa kw'obwa Nnabbi ow'enkomelero kubeera tekutuseewo- kubanga obwa Nnabbi obwa Muhammad bwasigazibwa Muhammad."
Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani
ekiyitibwa: Mirza Ghulam in Ek Ghalti Ka Izaala, Roohani
Khazain vol. 8 p. 212.
q "Alina omukisa gwa njawulo oyo antegedde. Mu makkubo gonna agakutuusa ewa Katonda, nze kkubo elisembyeeyo. Era mu bitangaala byonna, nze kitangaala ekisembyeeyo. Oyo yenna anjabulira wa mukisa mubi nnyo kubanga nze wessili ate wadawo kizikiza."
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo
eky'aba kadiyani ekiyitibwa Kashti-e-Nooh, Roohani
Khazain, vol. 19 p. 61).
q "Obwa Nnabbi bw'akoma ku Nnabbi waffe (S.A.A.W) n'olwekyo oluvannyumalwe teri Nnabbi mulala okujjako oyo yekka eyakilwaako ekitangaalakye era Katonda gwe yafuula nga yye gwe mwooyo gwa Nnabbi. Mukitegeere nti obw'enkomelero bw'obu Nnabbi bw'aweebwa Muhammad (S.A.A.W) okuviira ddala eyo ku ntandikwa; ate era ne buweebwa n'oyo (Mirza Ghulam) eyasomesebwa mwooyo wa Katonda era eyafuusibwa ekisiikirizekye. Bw’atyo alina omukisa oyo eyasomesebwa (nga ye Mirza). Bwe kityo ne kiba nti OBW'ENKOMELERO BW'OBU NNABBI bw’ateekebwateekebwa nga bwa kubelawo mu KYAASA EKY'OMUKAAGA, nga lwe lunaku olw'omukaaga mu nnaku eza Katonda…. Kale bwe kityo bwe kyaali nti: Masiih eyalaganyisibwa yazalibwa mu KYAASA EKY'OMUKAAGA."
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo
ekyaba kadiyani ekiyitibwa: Zamina Khutba Khamiah, Roohani Khazain
vol. 16p. 310).
Ate ye mirza Basheer Ahmad ng'ono ye mutabani wa Mirza Ghulam yawandiika bwati:
"Eliyo omuntu omu yekka eyafuna eddaala ly'obwa Nnabbi mu kibiina (Ummah) ekya Nnabbi Muhammad… ng'ojjeeko ono Masiih eyalaganyisibwa (Mirza) tewaliyo mugoberezi wa Nnabbi Muhammad eyatuuka ku ddaala ely'okuyitibwa ekisikirize kya Nnabbi. N'olwekyo Masiih eyalaganyisibwa ye yekka eyalondebwa okuyitibwa Nnabbi".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani
ekiyitibwa: Kalimat Al-Fasri, Review of Religious, Qadian
p. 116, No. 3 vol. 14).
Ate ko akatabo akamawulire akatongole nga ke kogelera ekibiina eky'aba kadiyani k’awandiika bwe kati:
"Ebyawandiikibwa bino bikakasa bukakasa nti
ng'ojjeeko Masiih eyalaganyisibwa, tewaliyo mulala ayinza kubeera Nnabbi….oluvannyuma
lwa Nnabbi (S.A.A.W).Wabula
ate, kyali kyetagisa okutumayo Nnabbi omu yekka, kubanga okujja
okw’aba Nnabbi abangi ekyo ate kyali kijja kutataaganya amagezi n'enteekateeka
ya Katonda.
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Tasheed-ul-azhan, Qadiani, No. 8, vol. 12, p. 11 dated August 1917).
MIRZA AGAJAMBURA OBUSIRAAMU
Mirza agamba:
OBUSIRAAMU OBWALIWO NGA MIRZA TANNAJJA EYO DIINI NFU.
· "Eyo mu mwaaka gwa 1906 Khwaja Kamaluddin yaleeta ekirowoozo n'agamba Moulvi Muhammad Ali akole endagaano n'omukung'aanya w'olupapula oluyitibwa Akhbar-e-watan obutabaako kye bawandiika nga kyogera akantu konna ku kabondo k’aba kadiyani, ku muko ogw'olupapula olwo ogukwaata ku kutunulira amaddiini, wabula, bawandiike era basasaanye ebintu ebya bulijjo ebikwata ku busiraamu era nti omukung'aanya w'olupapula watan ayongere okubunyisa mu lupapula luno obusiraamu nga kino kya kuyamba ku lupapula luno okwekkebejja ebikwata ku maddiini.
Masiih eyalaganyisibwa kino yakigaana era ne kiwakanyizibwa nnyo ekibiina kino (eky'aba kadiyani) Hazrat sahib yagamba:
"Mwaagala okusomesa
obusraamu obufu eri ensi nga
mujjeemu nze(Mirza)?
. (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Zikr-e-Habib ekyawandiikibwa Mufti Muhammad Sadiq Qadian ku page 146, first edition).
·
‘Ffe tukkiriza nti eddiini etelina kweyongera kwa
kujja kwa bubaka (nga bwe kiri mu busiraamu) ebeera Ddiini nfu.
Amaddiini: ng'eyaba yudaya, ey'aba kuristayo n'eyaba Hindu ffe
tugayita maddiini mafu: olw'ensonga nti tegakyalina ba Nnabbi mu go.
Ssinga kino bwe kyaali ne mu busiraamu, twandibadde tusigalidde kunyumya
bunyumya mboozi buboozi. Lwaki eddiini y'obasiraamu tugitwaala okubeera nti
y’esinga amadiini amalala? Eteekwa
kubeera nga yanjawulo.’
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Malfoozat-e-Mirza, vol. 10. page 127
MIRZA ALANGILIRA NTI EDDIINI Y'OBUSIRAAMU DDIINI
NKOLIMIRE, YA SITAANI ERA ENNYOOMOOFU .
yagamba bw’ati:
"Eyo tebeera ddiini era oyo ssi Nnabbi asaanidde
okugobelerwa ssinga omuntu tafuna kitiibwa kimusembeza ewa Katonda okunyumyaamu
naye. Eddiini eyo ebeera NKOLIMIRE
era ENNYOOMOOFU esomesa nti okukulakulana kw'omuntu kusinziira ku byafayo
n'enfumo ebitonotono [ng'ebyo ebili mu Qur'aan ne
shari’at-e Muhammadiyya nga byaatunyumizibwa Nnabbi (S.A.A.W)- bya muwandiisi] era ne WAHYI (obubaka) nabwo busigalidde mabega mu kifo ky’okugenda mu
maaso…N’olwekyo eddiini efanana bw’etyo esanidde eyitibwe ddiini YA SITAANI sso ssi
kugiyita ddiini eva ewa
Katonda".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Zamina Braheen-e-Ahmadiyya , part V, Roohani Khazain, vol. 21 page 306)
. Nga kigambo kya nnaku nnyo era
ekikyaamu
okukkiriza nti oluvannyuma lwa nnabbi ow’ekitiibwa(S.A.A.W) omulyaango gw’obubaka gwa galibwaawo Ddala era tewakyaali na
ssuubi nti guliggulibwaaawo nate okutuusa ku lunaku lw’enkomelero-Kale mmwe mugila mwesiinza enfumo.Dala kisoboka: e Ddiini etalina
mukululo gwa Allah
okuyitibwa e Ddiini?…Nze kale ng’amba,era
nday ira mu linnya
lya Allah, tewali mu myaaka gyaffe gino atamiddwa Ddiini eyo nga
nze.Eddiini eyo nze ngiyita Ddiini ya sitaani era ssi kya kusaasila (kya
katonda) era nzikkiriza nti
eddiini eyo ebeera eyolekeza muntu eri muliro era eziba omuntu amaaso mu bulamu okutuusa lw’afa.
(bino
bikoppeddwa okuva mu kitabo aky’aba
kadiyani ekiyitibwa:zamina braheen-e-ahmadiyya part V)
MIRZA BYE YAYOGERA KU
QUR’AAN
Mirza agamba bw’ati:
"Qur'aan kitabo kya Allah era bigambo bya kamwa
kange".
(bino bikopeddwa okuva mu birango eby'aba kadiyani ebyafulumira mu kitabo: Roohani Khazain vol. 22 p. 87 nga 15th March 1897).
Mirza bwe yasoomoozebwa nti ebiwandiikobye birimu ebigambo ebivuma abo abamuwakanya, ye yabaddamu n'agamba nti ne Qur'aan namwo mujjuddemu ebigambo ebitayisika mu kamwa era Mirza kwe kulondobayo ebigambo mu Qur'aan ye bye yagamba nti okusinziira ku mulembe guno bigambo bikyaafu.
(Bino
bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani
Khazain vol. 3 p. 115-117).
MIRZA AKYUUSAKYUUSA MU QUR'AAN.
Abantu bakozeseza engeri nnyingi okugikyuusakyuusa ezimu kuzo ze zino:
-
Okukyuusakyuusa mu mpandiika
-
Okukyuusakyuusa mu makulu n'ezivvunula
-
Okukyuusakyuusa mu ntaputa ne nkozesa ya ayats.
- Okusazaamu wamu n'okujjamu amateeka agamu mu Qur'aan.
Mirza emisango egyo gyonna ena yagizza. We wawo teyakyuusakyuusa mu mpandiika ey'olulimi oluwarabu mu Qur'aan naye bw'abeera nga yeesembesa ayats ezimu mu Qur'aan nga bwe kirabika mu bitabobye ebimu,ayats ezo, YAZIKYUUSAKYUUSA NG’AKIKOLA MU BUGENDEREVU.
Enzivvunula n'amakulu ebikyaamu eby'ansinga okwatikilira ennyo mwe muli emu kuzo eya Surat-ul- Al-Ahzaab, ayat ey'ana (33:40) ng'ekwata ku KUFUNDIKIRA OKW'OBUBAKA BWONNA, Bukya kitangala kya Busiraamu kitandika kwaakayakana, Nnaddala okuviira ddala eyo ku Nnabbi Muhammad S.A.A.W okutusiza ddala eno ku myaaka gwaffe guno gwe tulimu, abasiraamu bonna bazze bakimanyi era nga bakikakasa nti ayat eyo ekyasanguza, ekyoleka era n'ekilangilira bulungi awatali kwekkommooma nti okukka kw'obubaka kw'afundikwarwa ne Nnabbi Muhammad S.A.A.W. ekyo ne Mirza Ghulam ahmad, mu biseera by'emyakagye eby'asooka, kye yali akkilirizaamu. Wabula, oluvannyuma endowoozaye ku kino yakyuuka n'atandika okuyiiyayo ennyinyonyola eyiye egamba nti Muhammad (S.A.A.W) SSI Y'ENVUMBO Y'OBU NNABBI wabula ako kaba KABONERO AKAKAKASA okweyongera kw'okujja kwa ba Nnabbi abalala- Ng'alinga agamba nti ALLAH eyatuma ababaka 124,000 kati obwo obuvunanyizibwa abwegyeeko ate n'abukwasa Nnabbi muhammad( S.A.A.W.) Wabula ekisiinga okwewuunyisa:mukiseera kye kimu ne yelangilira nti YE YEKKA NNABBI ADIRIDDE muhammad (S.A.A.W.) Era yye ky’ekitaangaala ekisembyeeyo mu bitaangaala byonna ebya Allah. Mungeri endala, tuyinza okugamba nti ekyo kyelaga bwelazi nti ebyo byonna Mirza Ghulam bye yagezaako okukozesa byaali bya kugalangatanya bwongo bw’abantu nga bwe kilabikira mu nyinyonyolaze eziri mu bitabobye ng'obukodyobwe asobole okumatiza abagoberezi be nti naye yali Nnabbi. Bwe yamala okuggulawo omulyango gw’obwa Nnabbi ogwa KHATME NABUWWAT, n’aguyingira ate amangu ago n'aguggala. Kano ssikabonero ak’enkukunala ak'omubbi kasomolera?
Era mungeri y'emu abasomi baffe mukilabye nga Mirza
bwe yakozesa ayats ezo ezisuutasuuta n'okugulumiza Nnabbi Muhammad (S.A.A.W)
ate yye n'azikyuusa n'azepaatiikako
mbu zaali zisutasuuta n'okugulumiza yye nga mirza.
Ekikolwa KY’OKUSAANYAAWO ENJIGIRIZA EYAGAZISA ABANTU JIHADI , Mirza Ghulam Ahmad kye yakola, kya kulabirako eky'eyolefu ekilaga nga bwe yatigiinya n'okuzanyira ku mateeka ga Qur'aan. Ka mbaweeyo eky'okulabirako kimu kinatumala.
Yagamba bwati:
·
"Okutandika n'olwaleero NZIYIZZA omuntu
yenna okukozesa ekitala ng'alwaana mu kkubo lya Allah nga kino ekilagiro
kivudde wa ALLAH. Okuva n'olwaleero oyo yenna anaasitulanga ekitala ng'akyolekeza omukafiri yenna era nga yeyita Ghazi,
oyo ajja kubeera ng'ajemedde oyo omubaka (S.A.A.W), eyatugamba ,kati
emyaaka 1300 egiyise, nti oluvannyuma lw'okujja kwa Masiih eyalaganyisibwa Jihadi zonna ez'ebitala zigenda
kukoma. Kati oluvannyuma lw'okujja kwange (nze mirza) TEWAKYALIWO NTALO ZA BITALA. Eno ku
ludda olwaffe kati tuwanise
bendera ya mirembe na mukwano".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: collection of advertisement p. 295, vol. 3)
·
"Okuviira ddala eyo mu buto bwange okutuusiza
ddala eno kati nga mpeza emyaaka 65 egy'obukulu bwange,ekiseera kino, nkimaze
nga nkozesa ekalamu n'olumili lwange okutuukiriza omulimu omukulu ennyo nga
gwe gw'okukyuusa emitima gy'abasiru
(abasiraamu)".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Kitab-ul-Bariyya, Roohani Khazain vol. 13 p. 350)
·
"….ku lwa Gavumenti ya Bungereza, maze
okukuba mu kyaapa era ne nsaasaanya obutabo 50,000 munda mu gwanga (Buyindi)
wamu ne mu mawanga g'obusiraamu mangi (nga mpakanya Jihad)… ekivudde mu
kino kwe kubeera nti enkumi n’enkumi z'abantu bamaze okulekayo endowooza
zabwe envundu eza Jihad"
·
(Bino
bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani
Khazain 15 p. 114)
MIRZA
N'ABASIRAAMU
Mirza yabuuzibwa ekibuuzo nga kikwata ku Busiraamu era naye naddamu ebigambo ebitasanidde muntu yenna kubisubwa kubisomako. Ebigambo bino bisangibwa mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa Haqiifat-ul wahyi.
· EKIBUUZO: "Huzoor-e-aali agenda ayogera mu bifo bingi nti si kirungi okuyita omu KAFIRI nti Kalima-go (kitegeeza oyo ayogera Kalima) era okumuyita Ahli-qibla, kibo kiba kyelaga bwelazi nti ng'ogyeeko abo abakkiriza oluvannyuma abakafuwala olw'obutakukkiriza, nga bakuwakanya buwakanya, tewali afuuka mukafiri. Wabula ate ggwe wawandiikira Abdul Hakiim Khan nti omuntu yenna atusiddwako obubakabwo naye n'atakukkiriza, oyo ssi musiraamu. Tufuna okukontana mu bigambobyo bino n'ebyo bye tusanga mu bitabobyo eby'asooka. Emabegako, wawandiika mu kitabokyo ekiyitibwa Tiryaqul-Quloob n'ebilala ng'ogamba nti tewali ayinza kukafuwala olw'okkuwakanya ate kati wekyuusizza era owandiika nti oyo yenna akuwakanya abeera akafuwadde!".
· OKUDIBWAMU: "Kino kyewunyisa okubeera nti omuntu atakkiliriza mu nze n'oyo ampita omukafiri, ggwe bombi obatwala nti ba njawulo. So ng'ate mu maaso ga Katonda bombi babeera kye kimu; olw'ensonga nti oyo yenna ampakanya olw'okubeera nti antwala okuba omuzuuzi….ate ssi ekyo kyokka, n'oyo atakkiriza nze, abeera takkiriza Katonda n'omubakawe kubanga ebigambo bya Katonda n'omubakawe byonna binjogerako".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Haqeeqat-ul Wahyi, Roohani Khazain vol. 22 p. 167).
· Singa ogyako ABAANA BA BAMALAYA, bo abo emitima gyaabwe Katonda yagitekako envuumbo, naye abasigadde bonna bankakasa era ne banzikkilirizaamu".
(Bino bikopeddwa okuva mukitabo
eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Aina-e-Kamalat-e-Islam, Roohani
Khazin vol. 5 p. 547).
·
"Katonda asizza obubaka gyendi nga ang’amba nti
oyo yenna maze okutuusibwaako obubaka bwe nzize nabwo oluvannyuma
natanzikkiriza, oyo tabeera musiraamu
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Letter to Mirza to Dr. Abdul Hakeem Khan Patialvi)
·
Nfunye obubaka okuva ewa Katonda nga bung’amba nti: Oyo
yenna atakugoberlera era natayingira
mu Baith yo era nasigala ng'akulwanyisa, abeera ajeemedde Katonda
n'omubakabawe. Ng'anabeera alabye".
(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Adverstisement in M'ayaar-ul-Akhyar of Mirza Ghulam p. 8).
·
"Musanidde mujjukire Katonda bwe yang'amba nti kigamiddwa
era kiziyiriziddwa ddala eri omuntu yenna okusaalira esswalah ye emabega w'oyo
atali mukkiriza wamu n'oyo eya kyuukira ku bisinziro bye (n'atangobelera)
wabula musanidde okubeera nga mufanana mu bukkiriza (iman)
· (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Arbaeen No. 3 Roohani Khazain vol. 17 p. 417).
OKUWUUMBAWUUMBA
Abagalwa abasomi baffe!
Nina esuubi nti wano wetutuuse mumaze okufuna ekifananyi ekyeyolefu ekitalimu kubuusabuusa kwonna ekitulaze wa omusajja ono w'ayimiridde ku Busiraamu era na kiki Mirza kyaali. Ebyo byonna bye yelerejja nabyo mbu yali omuntu eyali atamiziddwa n'omukwano gwe yalina eri Nnabbi w'obusiraamu, kaali kakodyo ka kusendasenda basiraamu bambi abaali abatalina kye bamanyi kinene kyannyo ku Ddiini yaabwe basobole okuyingira mu nzikkiriza y'ekibiina eky'aba Kadiyani oba kiyite eky'aba Ahmadiyya.
Ebibuuzo bino wamanga buli musomi asanidde abyebiize.
· Ddala ebigambo ebyo waggulu ebyogeddwa bituufu oba nedda?
· Bwe bibeera nga bituufu, kisoboka okugamba nti Mirza Ghulam Ahmad, omutandisi w'ekibiina ky'aba Ahmadiyya, yasuutasuuta nnyo wamu n'okutendereza Saidina Muhammad (S.A.A.W) oba yatyooboola mutyooboole na kumuvuma?
· Omuntu ng'oyo kiyinzika omutwegwe okubeera nga mulamu?
· Ddala omuntu oyo asanidde okuyitibwa omusiraamu?
· Lwaki ekibiina ky'aba Ahmadiyya Movement kikweeeka ebigambo n'ebikolwa by'omutandisi w'ekibiina kyaabwe?
· Lwaki ekibiina ky'aba Ahmadiyya Movement kifaayo nnyo era ne kiwankira wankira nnyo okuwa ekifananyi eky'oludda olumu olwokka ekilaga nga Mirza Ghula Ahmad bwe yali omugoberezi era omwagazi owa Nnamaddala owa Nnabbi ( S.A.A.W)?
Eyo yonna ensalawo gy'onooba ofunye ku ye, gigerageranye neyo Mirza ghulam ahmad yennyini gye yelonderawo ku ki kyaali bwe yatontoma ekitontome kino wamanga:
"Ow'omukwano,
nze nsiringanyi! Sili muntu
nze kitundu
ekikozesebwa mu by'obugwenyufu ku
basajja era ekifo eky'ensonyi ku Bantu
KANO
KETEGEREZE:
Amakulu g'ebigambo ebyakozesebwa mu lurimi olu Urdu bitegeeza ebyo ebitundu eby'ekyaama
eby'abantu – (Binyonyoddwa omuwandiisi)
(Kino
ekitontome kikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba Kadiyani ekiyitibwa: Braheen-e-Ahmadiyya-V.
Roohani Khazain vol. 21 p. 127).
Nga mmaliriza
nsaba Allah alage era ayakayakanye ekitangala ky'obusiraamu eri
abo ab'awubisibwa wamu n'okubuzibwabuzibwa olwa ppokoppoko w'obulimba
eyabakolwaako abo abekweeka mu linnya ly'obusiraamu sso ng’ate tebabuli. Nsaba Allah ataase enzikkiriza
y'obusiraamu eri obulimba ng'obwo. Amiin.
Assalaamu
Alaikum eri abo bonna
abagobelera ekkubo eggolokofu.
ANTI AHMADIYYA MOVEMENRT IN
ISLAM SYED ABDUL HAFEEZ SHAH
DR SYED RASHID ALI
P.O.BOX 11560
Dibba Al Fujairah
United Arab Emirates
Fax
(971 9) 442846
LUGANDA
BISILLAHI AL-RAHMAANI AL-RAHIM
Anti
Ahmadiyya Movement in Islam
9th
January 2002
OKUKONTANA KW'EBIWANDIIKO
BYA
MIRZA GHULAM, OMU KADIYANI
BIWANDIIKIDDWA
Dr. Rashid
Doublethink…….. eno y'enkola engazi ey'okuwubisibwa nga ‘amagezi ag'ekibbibbi
(George Orwell).
Doublethink "ky'ekilowoozo ekirimu okukkirizisa n'obulimba okukontana ennyo
ebissukkiridde, naddala ng'oli abikozesa ng'akakodyo k'okwegulumiza".
(The American
Heritage ® Dictionary of the
English Language, third edition.)
Mirza Ghulam omu kadiyani, ye mitandisi w'ekibiina ekiyitibwa AHMADIYYA MUSILIM MISSION. Ey'epaatikako okubeera ng'azza obupya obusiraamu, era ne yeyita Nnabbi wa Katonda, wamu n'okubeera nti yeeyita Masiih eyalganyisibwa. Mu biseera by'obulamu bwe yawandiika ebitabo 80 ebituyambye ennyo okuteeka ku bikukujju empisa n'embeera z'omusajja eno ebizze bikusikibwa. Mu katabo kano ng'enda okwanika ebimu ku bigambobye ebyo ebikontana bye nzize nsomako mu ebyo ebiwandiiko bya Mirza Ghulam omu kadiyani. Wabula, nga sinnaba kukola ekyo, kansooke okusaba abasomi musome ebiwandiiko bino wamanga ebimu ku ebyo bye nkoppye okuva mu bitabo eby'enjawulo eby'awandiikibwa omu kadiyani Mirza, bitusobozese okulamula omusajja ono nga tukozesa ebiwandiikobye byennyini.
OKULAMULA KWA MIRZA KU KUKONTANA
"Ebiwandiiko by'omulimba biteekwa buteekwa obubamu ebikontana".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky'aba kadiyani ekiyitibwa:
Zamima
Braheen –e-Ahmadiyya ekitundu 5, Roohani Khazain vol. 21p. 275)
"Ebiwandiiko by'omuntu ow'amazima
era omutegeevu te biusobola
kubaamu
kukontana kwanna
n'akamu. Ddala kituufu, singa omuntu
yenna abeera mulalu
oba nga tategeera oba singa omuntu oyo abeera
n'obunnanfuusi obw'okumala
gawanawana muntu n'okukkirizakkiriza, ebiwandiikobye butelevu
biteekwa okukontana."
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa :
Sat Bachan,
Roohani Khazain vol. 10 p. 132)
"Omuntu
yenna omugezi era omutegeevu tasobola kubeera
ng'akkiliriza mu nzikkiriza bbiri ez'enjawulo". (Bino bikoppeddwa
okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa:
Roohan i
Khazain vol. 3 p. 220)
Kakati ate ka mbatunuzeeko ku ludda olulala, olw'ebyo ebiwandiikobye, bibeere ebyokulabilako ku bimu ku ebyo ebikontana:
OBULOMBOLOMBO
N'EMPISA Z'ABA MIRZAIEE
OKWEWANAWANA KW'OKWERAGA
-
"Katonda yennyini ye yasindika omubaka we omwetowaze ono,
ow'empisa ennungi." (Bino
bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vo. 17
p. 426)
- Kale nze ssi yanukulangako muntu yenna nga nkozesa olulimi oluvuma. (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 19 p. 236)
- "Okukolima ssi nkola ya SIDDIQ (omwogezi ow'amazima). Omukkiriza takolima". (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 3, p. 456)
Naye go amazima ge gano:
Mirza Ghulam bwe yali nga ayanukula omu ku abo ab'amuwakanya, yagamba bwati:
"Owange ggwe musayi
mutabule, omu nyoomoofu! Khabees! (omubi ennyo) omulabe wa Allah
ne Nnabbi! Okoze ekikolwa
kino eky'aba Yudaya nga
ky’eky'okukyuusakyuusa mu bubaka (obu Nnabbi), kino kisobozese
eky'amagero kino ekinene ekya Nnabbi (S.A.A.W) okukusikibwa eri
ensi…wooo! Obulimba bwo bwoleseddwa… okusinziira ku bigambo bino, Ddala abasiru
bano bategeera amakulu g'ebigambo bino? Abange
mmwe aba Morons! Ba muzibe!
Ekiswaaza kya Molviyat!…nnaddala omutwe gw'aba Ddajjali, Abdul
Haq Ghaznavi n'ab’agoberezibe; emirundi enkkumi n'enkkumi ez'ebikolimo
okuva ewa Allah biyinza oku bakkako. Yii! ggwe Ddajjali omukyaafu!
Obubaka bw'atuukirizibwa naye obukuusa bukuzibye amaaso"
(Bino bikoppeddwa okuva mu
kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Zamima Anjam-e-Atham, Roohani
Khazain vol. 11 p. 330)
Mirza bwe yali ayanukula Hazrath Mehr Ali shaho, omu ku abo abaali
bamuwakanya, yayogera ebigambo bino; " Omulimba ggwe, Khabees
(Omubi ennyo) aluma ng'essalambwa. Obutuuze bwa Golra! Ekikolimo ekya
Katonda kikke gy'oli. Ofuuse eky'enyinyalwa olw'okukolimirwa."
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani
ekiyibwa: Roohani
Khazain vol. 18)
"Abalabe bange (ategeeza Abasiraamu) bafuuse embizzi
ez'omunsiko era n'abakyaala baawe kati babi nnyo okusinga embwa enkazi".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani
ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 14p. 53).
Kati ate ddamu asoma bino:
"Kale
nze ssi yanukulangako
muntu yenna nga nkozesa olulimi oluvuma."
(bino bikkoppedwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani
Khazin vol.19 p.236)
"Katonda yenyini ye yasindika omubakawe
omwetowaaze ono. Ow'empisa n'enneyisa ebirungi
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani
Khazin vol.17 p.426)
"Okukolima ssi nkola ya SIDDIQ (Omwogezi
w'amazima) omukkiliza takolima
(Bino bikoppeddwa okuva
mu kitabo eky'aba kadiyani
ekiyitibwa: Roohani Khazin vol.3 p.456)
Mirza Ghulam – Amazima gawakanya obulimba.
NZE
SSI SOMESEBWANGAKO.
·
"Mahdi
tayinza kubeera muyizi wa muntu yenna. Ndayira nti eno y'embeera yange yenyini.
Tewali ayinza kuleeta bujulizi nga bulumiriza nti eriyo omuntu yenna eyansomesa
Qur'aani".
·
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo
eky'aba kadiyani ekiyitibwa; Roohani Khazain vol. 14p. 394).
BANO BE B’ANSOMESANGA:
· "Bwe nnaweza emyaaka kkumi (10) egy'obukulu b’andetera omusomesa ow'oruwarabu ng'erinnya lye ye Fazal Ahmed…….era bwe nnaweza wakati w'emyaka 17-18 egy'obukulu nasomesebwa omulala eyali ayitibwa Gul Ali Shah kitange gwe yajja e Kadiyani".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 13p. 180).
· "Bwe nnaweza awo wakati w'emyaaka 6-7 egy'obukulu, omusomesa omuFarsi bamuwa omulimu ogw'okunsomesa Qur'aan entukuvu…..era erinnya lye yayitibwanga Fazal Llahi".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani
ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 13p. 180).
NZE SIRI NNABBI:
·
"Kiyinzika kitya okukkirizika nti n'eyita Nnabbi era nnenva n’okuva mu busiraamu okwegatta ku kibiina eky'aba kaafiri?"
· (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 7 p. 297).
·
"Kisoboka okubeera nti omuntu omuzuuzi
afafaganiddwa bw'atyo, eyeepaatiika ku bwa Nnabbi era n'obubaka,
okukkiliriza mu Qur'aan okukkiriza
aya egamba bweti:
'Wa laakin-Rrasulallahi wa
khatama Nnabiyyini' nga bigambo bya Allah, ayinza okugamba nti nze
ndi mubaka oba Nnabbi oluvannyuma lwa Nnabbi S.A.A.W?"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Anjame Atham, Roohani Khazain vol. 11p. 297).
·
Nze Sepaatikangako ku bwa Nnabbi era
siri awakanya eby'amagero,oba
awakanya ba malayika era awakanya
n’ekiro eky'amagero ….era
nze siri eyeyita omusika wa syedna wa maulama Muhammad S.A.A.W,
era Khaatamul Mursaliin. Omuntu yenna eyeyita Nnabb era eyeyita
omubaka, mubala
okubeera omulimba era omu kaafiri".
· (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Tableeghe Risalat vol. 22, collection of Advertisements vol 1 p. 230).
NZE NDI NNABBI
·
"Ndayira erinnya lya Katonda oyo awaniridde
obulamu bwaange mu mikono gye. Ye yantuma era n'ampa erinnya ly'obwa Nnabbi
era n'antuma nga Masiih eyalaganyisibwa".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Tatumma Haqeeqatul Wahyi, Roohani Khazain vol. 22p. 503).
·
"Katonda
ow'amazima yoyo Katonda eyatuma
omubakawe e Kadiyani"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Dafa al Bala p. 11, Roohani Khazain vol. 18p. 231).
SSI
NZE MASIIH EYALAGANYISIBWA
·
"Nze sepaatikangako ku bwa masiih Ibn
Maryam era oyo yenna annumika
ekigambo bwe kityo, abeera mulimba
era omuzuuzi owa Nnamaddala".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Izala-e-Auham, Roohani Khazain vol. 3p. 192).
NZE
MASIIH EYALAGANYISIBWA
·
"Nnangilira nti nze Masiih
eyalaganyisibwa, oyo ebitabo ebitukuvu byonna ebya Katonda gwe byalangilira nti agenda kujja mu nnaku ezisembayo".
· (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 17p. 295)
·
"Ndayira erinnya lya Katonda nti ekikolwa
eky'obuzuuzi mu ddiini mulimu gw'abo abakolimire. Katonda yatuma nze nga masiih eyalaganyisibwa"
( Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky'aba kadiyani ekiyitibwa: Collection of Advertisemen of Mirza Ghulasm vol. 3p. 435).
OLULIMI LWA ILHAM
· "Kino kya busiru era ekitategerekeka nti olulimi oluzaliranwa olw'omuntu lulala ate obubaka obumukkako ne bubeera mu lulimi olulala lw'atategeera na kutegeera, kubanga mukyo mulimu obuzibu. Era mugaso ki ogw'obubaka bwe butyo nga tebuutegeerwe Bantu"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Chashma-e Ma'arifat p. 209, Roohani Khazain vol. 23p. 218).
·
"Kino kyewuuyisa nnyo nti obubaka obumu bukka
kunze mu nnimi ezo ze ssitegelera
ddala ng'olungereza, olu Sanskrit oba olu Yudaya n'enddala.
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Nuzoole-e-Maseeh p.57, Roohani Khazain vol. 18p. 435).
·
"olwensonga nti mu wiiki eno waliwo essuula ezimu ezikkidde mu
lulimi olungereza wamu n'enddala era ne wankubadde ezimu kuzo
z'abuuzibwa (? Zavvunulwa) omuvubuka omu Hindu, naye nga
tekimatiza, era ng'obubaka obumu bwavvunulwa Allah, essuula ezimu
zisuubirwa okubeera nga zaali mu lulimi oluyudaya. Ezo zonna zisanidde
zinonyezebweko era zinyonyolwe………..amangu ddala nga bwe kisoboka. zinyonyoke,
ate mu mpandiikire nga muntegeeza mu ngeri esomeka amangu.
·
(Bino
bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Letter
of Mirza Ghulam Qadian (kadiyani) to Mr. Mir Abbas Ali Shah, Maktoobaat-e-
Ahmadiyya- Collection of letters of Mirza Ghulam, vol. 1p. 68).
Subuhaan-Allah! Mulabe ebizibu eby'atuuka ku musajja eyagamba mbu yalondebwa Katonda!!! Ng'amussaako obubaka mu nimi ez'enjawulo ate nga bambi Nnabbiwe tazitegeera, ekyo bambi ate ne kimuwaliriza okweebuuza ku muvubuka omuHindu!!!
KANO KETEGEREZE: Mir Abbas Saheb ye yali Mureed eyasooka owa Mirza Ghulam omu kadiyani, oluvanyuma lw'okwelabirako n’agage ebintu ebifanana bwe bityo nga biva mu muntu gwe yali akakasa nti yali Nnabbi, yasalawo n'ayabulira Mirza n'asiramuka. Ebikwata ku ye ebisingawo genda obisome ku lutaambi lwa intaneti luno: (http://alhafeez.org/rashid/abbas.htm)
· "Ebiwandiiko by'omulimba biteekwa buteekwa okubamu ebikontana".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Zamima Braheen –e- Ahamdiyya ekitundu 5, Roohani Khazain vol. 21p. 275).
·
"Ebiwandiiko by'omuntu ow'amazima era
omutegeevu tebisobola kubaamu nakukontana kwonna n'akamu. Yeee ddala kituufu,
singa omuntu yenna abeera
mulalu era ng’alimu n'obunnanfuusi era nga
yye amala gawanawana muntu n'okumala gakkirizakkiriza,
ebiwandiikobye buterevu biteekwa okukontana".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Sat Bachan, Roohani Khazain vol. 10p. 13)
·
"Omuntu
yenna omugezi era omutegeevu tasobola
kubeera ng'akkiliriza mu nzikkiriza biri ez'enjawulo".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 3 p.220).
Kakati nsaba abasomi bange
okubeera abeddebe okwesalirawo era
n’okulamula Mirza Ghulam omu kadiyani nga
musinziira ku bigambobye byennyini. Mulimba oba mulalu? Tategeera? Oba
mu Nnanfuusi?
Wasaalam eri abo bonna
abanoonya hidayah
Dr. Syed Rashid Ali
P.O.Box 11560
Dibba, Al-Fujairah
United Arab Emirates